Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:59

[1] Awo Yesu n'addamu okwogera n'abantu ng'akozesa engero, n'agamba nti:

[2] “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyateekerateekera omwana we embaga ey'obugole.

[3] N'atuma abaddu be okutegeeza abaayitibwa ku mbaga, nti: ‘Mujje.’ Naye bo ne bagaana okujja.

[4] “N'atuma nate abaddu abalala ng'agamba nti: ‘Mugambe abaayitibwa nti: Embaga yange ewedde okuteekateeka. Ente zange n'ebyassava ebirala bittiddwa. Era buli kintu kiwedde okutegeka. Mujje ku mbaga ey'obugole.’

[5] “Naye abaayitibwa ne batafaayo. Omu n'alaga mu kyalo kye, omulala mu by'amaguzi bye.

[6] Ate abalala ne bakwata abaddu be ne babayisa bubi, era ne babatta.

[7] Kabaka n'asunguwala, n'asindika eggye lye, n'azikiriza abassi abo, era n'ayokya ekibuga kyabwe.

[8] Awo n'agamba abaddu be nti: ‘Embaga ey'obugole ewedde okuteekateeka. Naye abo abaayitibwa tebasaanira.

[9] Kale mulage mu masaŋŋanzira, bonna be munaalaba mubayite ku mbaga ey'obugole.’

[10] Abaddu ne balaga mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baasanga, ababi n'abalungi. Ekisenge eky'embaga ey'obugole ne kijjula abagenyi.

[11] “Awo kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole.

[12] Kabaka n'amugamba nti: ‘Munnange, oyingidde otya muno nga toyambadde kyambalo kya mbaga ya bugole?’ Ye n'asirika.

[13] Awo kabaka n'agamba abaweereza nti: ‘Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.’ ”

[14] Awo Yesu n'amaliriza ng'agamba nti: “Bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.”

[15] Awo Abafarisaayo ne bagenda, ne bateesa nga bwe banaatega Yesu mu bigambo.

[16] Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'abawagizi ba Herode, ne bagamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu.

[17] Kale nno ssebo, tubuulire, olowooza otya? Kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa?”

[18] Kyokka Yesu n'ategeera enkwe zaabwe, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe, lwaki munkema?

[19] Mundage essente ey'omusolo.” Ne bamuleetera essente.

[20] N'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?”

[21] Ne bamuddamu nti: “Bya Kayisaari.” Awo Yesu n'abagamba nti: “Kale nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”

[22] Bwe baawulira ebyo, ne beewuunya nnyo, ne bamuleka, ne bagenda.

[23] Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu.

[24] Ne bagamba nti: “Muyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa, n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’

[25] “Kale ewaffe waaliyo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa. N'afa nga tazadde mwana. Mukazi we n'amulekera muganda we.

[26] Ekintu kye kimu ekyatuuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w'omusanvu.

[27] Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa.

[28] Kale ku lunaku olw'amazuukira, omukazi oyo aliba muk'ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.”

[29] Awo Yesu n'abaddamu nti: “Muwubwa olw'obutamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda.

[30] Kubanga abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu: nga tebakyawasa, era nga tebakyafumbirwa.

[31] “Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yabagamba? Yagamba nti:

[32] ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.’ Katonda si wa bafu, wabula wa balamu.”

[33] Abantu bwe baawulira ebyo, ne beewuunya okuyigiriza kwe.

[34] Awo Abafarisaayo bwe baawulira nti Yesu asirisizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaana.

[35] Omu ku bo, omunnyonnyozi w'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti:

[36] “Muyigiriza, kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”

[37] Yesu n'amuddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna.

[38] Ekyo kye kiragiro ekikulembera byonna, era ekisinga obukulu.

[39] Ekiragiro ekiddirira ekyo mu bukulu, era ekikifaanana, kye kino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.’

[40] Ku biragiro bino byombi, Amateeka gonna n'ebyawandiikibwa abalanzi kwe byesigamye.”

[41] Awo Abafarisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza nti:

[42] “Mulowooza mutya ku Kristo? Muzzukulu w'ani?” Ne bamuddamu nti: “Muzzukulu wa Dawudi.”

[43] Yesu n'ababuuza nti: “Kale lwaki Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, amuyita Mukama we? Agamba nti:

[44] ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’

[45] “Kale oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?”

[46] Ne watabaawo ayinza kumuddamu kigambo. Era okuva olwo tewaaliwo muntu yaguma kwongera kumubuuza kibuuzo.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Matayo — Chapters