[1] Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa ku kutta Yesu.
[2] Ne bamusiba, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato omufuzi Omurooma.
[3] Awo Yuda eyalyamu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa. Era ebitundu bya ffeeza n'abiddiza bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga,
[4] nga bw'agamba nti: “Nayonoona okuwaayo omuntu okuttibwa sso nga talina musango!” Naye bo ne bamuddamu nti: “Ekyo tukifaako ki? Ezo nsonga zo.”
[5] Yuda n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Ssinzizo, n'afuluma, n'agenda yeetuga.
[6] Bakabona abakulu bwe baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo, ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa okuteeka ensimbi zino mu kifo omuteekebwa ebirabo, kubanga ziguze omusaayi gw'omuntu.”
[7] Bwe baamala okukkaanya, ne bazigulamu ennimiro y'omubumbi, okuziikangamu abagenyi.
[8] Ennimiro eyo kyeyava eyitibwa Ennimiro y'Omusaayi n'okutuusa kati.
[9] Olwo ekyayogerwa omulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: “Ne batwala ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo abamu ku bantu ba Yisirayeli gwe baalamula mu oyo,
[10] ne bagulamu ennimiro y'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.”
[11] Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'omufuzi Omurooma. Omufuzi oyo n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
[12] Ate bakabona abakulu bwe baamuwawaabira, n'ataddamu n'akatono.
[13] Awo Pilaato n'amugamba nti: “Towulira ebyo byonna bye bakulumiriza?”
[14] Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo na kimu. Omufuzi ne yewuunya nnyo.
[15] Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, omufuzi Omurooma yali amanyidde okuta omusibe, ekibiina ky'abantu gwe kyamusabanga.
[16] Ku mulundi guno, waaliwo omusibe amanyiddwa ennyo, ayitibwa Barabba.
[17] Awo abantu bwe baakuŋŋaana, Pilaato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere aluwa: Barabba, oba Yesu ayitibwa Kristo?”
[18] Kubanga yamanya nti baali bawaddeyo Yesu lwa buggya.
[19] Awo Pilaato bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omuntu oyo atalina musango tomukolako kabi n'akatono, muleke, kubanga olwaleero, nalumiddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.”
[20] Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu okusaba Barabba ateebwe, Yesu azikirizibwe.
[21] Naye omufuzi n'ababuuza nti: “Ku bano bombi mwagala mbateere aluwa?” Ne baddamu nti: “Barabba.”
[22] Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
[23] Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
[24] Pilaato bwe yalaba nga byonna bya bwereere, era nga beeyongera bweyongezi okusasamala, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo, mu maaso g'abantu bonna nga bw'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku kuttibwa kwa muntu ono. Byonna biri ku mmwe.”
[25] Abantu bonna ne baddamu nti: “Ekibonerezo olw'okuttibwa kwe kibe ku ffe, ne ku baana baffe.”
[26] Awo Pilaato n'abateera Barabba. Ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
[27] Awo abaserikale ba Pilaato ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato, oluyitibwa Purayitoriyo. Ekibiina kyonna ne kimukuŋŋaanirako.
[28] Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
[29] Ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo, ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!”
[30] Ne bamufujjira amalusu, ne bakwata olumuli, ne bamukuba mu mutwe.
[31] Bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye luli, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
[32] Bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukireene, ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu.
[33] Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga,
[34] ne bawa Yesu omwenge gw'emizabbibu, nga gutabuddwamu ekintu ekikaawa. Kyokka bwe yakombako, n'atayagala kunywa.
[35] Bwe baamala okumukomerera ku musaalaba, ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu.
[36] Ne batuula awo ne bamukuuma.
[37] Waggulu w'omutwe gwe ne bateekawo omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti: “ONO YE YESU, KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
[38] Era ne bakomerera abanyazi babiri ku misaalaba okumpi ne Yesu: omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
[39] Abantu abaali bayitawo ne bavuma Yesu,
[40] ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye. Oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musaalaba okke!”
[41] Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, nabo ne bamukudaalira nga bagamba nti:
[42] “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya ye yennyini. Ye Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulyoke tumukkirize.
[43] Yeesiga Katonda, era yagamba nti Mwana wa Katonda. Kale Katonda amuwonye kaakano oba ng'amwagala.”
[44] Abanyazi abaakomererwa ku misaalaba okumpi naye, nabo ne bamuvuma mu ngeri ye emu.
[45] Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.
[46] Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
[47] Abamu abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ayita Eliya!”
[48] Amangwago omu ku bo n'adduka, n'akwata ekyangwe, n'akinnyinka mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa.
[49] Naye abalala ne bagamba nti: “Leka, tulabe oba nga Eliya anajja okumuwonya!”
[50] Awo Yesu n'akoowoola nate n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
[51] Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika.
[52] Entaana ne zibikkuka, abatuukirivu bangi abaali bafudde ne bazuukira,
[53] ne bava mu ntaana. Era Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu Kibuga Ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba.
[54] Omurooma omukulu w'ekibinja ky'abaserikale era n'abaserikale abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ensi bw'ekankana, era ne byonna ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ono abadde Mwana wa Katonda!”
[55] Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Galilaaya, nga bamuweereza, abaali ewalako nga balengera.
[56] Mu abo mwalimu Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yakobo ne Yose, era ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo.
[57] Obudde bwe bwawungeera, omusajja omugagga ow'e Arimataya, ayitibwa Yosefu, n'ajja. Era naye yali muyigirizwa wa Yesu.
[58] N'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. Awo Pilaato n'alagira okugumuwa.
[59] Yosefu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi.
[60] N'aguteeka mu ntaana eyiye empya ey'empuku, gye yali asimye mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja eddene, n'aliggaza omulyango gw'entaana, n'agenda.
[61] Mariya Magudaleena ne Mariya omulala baali batudde awo mu maaso g'entaana.
[62] Ku lunaku olwaddirira, kwe kugamba oluddirira olw'Okweteekateeka, bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne bakuŋŋaana, Ne bagenda eri Pilaato,
[63] ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde: omulimba oyo bwe yali ng'akyali mulamu, yagamba nti: ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu, ndizuukira.’ 9:22; 18:31-33
[64] Kale nno lagira bakuumire ddala entaana, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kugenda kumubbamu, bagambe abantu nti: ‘Azuukidde!’ Olwo obulimba obwo obw'oluvannyuma ne buba bubi okusinga obwo obwasooka.”
[65] Pilaato n'abagamba nti: “Mulina abakuumi. Mugende mukuumire ddala entaana nga bwe muyinza.”
[66] Awo ne bagenda, ne banywereza ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.