Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:58

[1] Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba bamalayika bana, nga bayimiridde ku nsonda ennya ez'ensi, nga baziyiza embuyaga ennya ez'ensi, waleme kubaawo mbuyaga ekunta ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku muti n'ogumu.

[2] Ate ne ndaba malayika omulala ng'ayambuka ng'ava ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda Nnannyinibulamu. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'ayita bamalayika abana abaalagirwa okukola akabi ku nsi ne ku nnyanja.

[3] N'agamba nti: “Temukola kabi ku nsi, oba ku nnyanja, wadde ku miti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero mu byenyi by'abaweereza ba Katonda waffe!”

[4] Awo ne mpulira omuwendo gw'abo abaateekebwako akabonero. Baali emitwalo kkumi n'ena, mu enkumi nnya, abaava mu buli kika ky'abantu ba Yisirayeli.

[5] Ab'omu Kika kya Yuda, abaateekebwako akabonero, baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Rewubeeni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Gaadi, omutwalo gumu mu enkumi bbiri;

[6] ab'omu Kika kya Aseeri, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Nafutaali, omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ab'omu Kika kya Manasse, omutwalo gumu mu enkumi bbiri;

[7] ab'omu Kika kya Simyoni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Leevi, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Yissakaari, omutwalo gumu mu enkumi bbiri;

[8] ab'omu Kika kya Zebbulooni, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; ab'omu Kika kya Yosefu, omutwalo gumu mu enkumi bbiri; n'ab'omu Kika kya Benyamiini, omutwalo gumu mu enkumi bbiri.

[9] Ebyo bwe byaggwa, ne ntunula, ne ndaba ekibiina kinene eky'abantu, omuntu b'atayinza kubala. Baava mu mawanga gonna ne mu bika byonna, ne mu bantu bonna, ne mu nnimi zonna. Ne bayimirira mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'Omwana gw'Endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, nga bakutte n'amatabi g'enkindu.

[10] Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka, ne bagamba nti: “Twalokolebwa Katonda waffe atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era n'Omwana gw'Endiga!”

[11] Bamalayika bonna baali bayimiridde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'abakadde, n'ebiramu ebina. Awo ne bavuunama mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne basinza Katonda,

[12] nga bwe bagamba nti: “Amiina. Katonda waffe oweekitiibwa n'amagezi, era ow'obuyinza n'amaanyi agulumizibwenga, atenderezebwenga, era yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina.”

[13] Awo omu ku bakadde n'ambuuza nti: “Bano abambadde ebyambalo ebyeru be baani, era bava wa?”

[14] Ne mmuddamu nti: “Mukama wange, ggwe omanyi.” N'aŋŋamba nti: “Bano be baayita mu kubonaabona okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'Endiga.

[15] Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda, ne baweereza emisana n'ekiro mu Ssinzizo lye. Era oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, anaabeeranga nabo ng'abakuuma.

[16] “Tebaliddayo kulumwa njala na nnyonta. Tebalyokebwa njuba, wadde ekyokya ekirala kyonna,

[17] kubanga Omwana gw'Endiga, ali wakati w'entebe ey'obwakabaka, anaabalabiriranga, abakulembere, abatuuse ku nsulo z'amazzi ag'obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters