Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:47

[1] Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akamu ku bubonero omusanvu, era ne mpulira ekimu ku biramu ebina, nga kyogera mu ddoboozi eriri nga laddu nti: “Jjangu!”

[2] Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enjeru. Oyo agyebagadde yalina omutego. N'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, alyoke awangulire ddala.

[3] Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kigamba nti: “Jjangu!”

[4] Ne wavaayo embalaasi endala, nga mmyufu. Oyo agyebagadde yalina obuyinza okuleeta olutalo ku nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene.

[5] Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enzirugavu. Oyo agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe.

[6] Ne mpulira ng'eddoboozi eryogerera wakati w'ebiramu we byali, nga ligamba nti: “Ekigero kimu eky'eŋŋaano, kya mpeera ya lunaku lumu; n'ebigero bisatu ebya bbaale bya mpeera ya lunaku lumu. Omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu tobyonoona.”

[7] Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kigamba nti: “Jjangu!”

[8] Ne ntunula, ne ndaba embalaasi eya kivuvvu. Agyebagadde erinnya lye nga ye Kufa, ate Magombe ng'ajja amugoberera. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekimu ekyokuna eky'ensi, bassise ekitala n'enjala n'endwadde, n'ebisolo eby'oku nsi.

[9] Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookutaano, ne ndaba wansi wa alutaari, emyoyo gy'abo abattibwa olw'okukkiriza ekigambo kya Katonda, n'olw'okukitegeeza abantu.

[10] Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nga bagamba nti: “Mukama Omutuukirivu era ow'amazima, olituusa ddi obutasalira bantu ba ku nsi musango kubasinga, n'obabonereza olw'okututta?”

[11] Buli omu ku bo n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa omuwendo gwa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutiibwa nga bo, lwe guliwera.

[12] Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akabonero ak'omukaaga. Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjuba n'ezikira n'efaanana ng'ekikutiya ekiddugala, n'omwezi gwonna ne gumyuka ng'omusaayi. 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:25

[13] Emmunyeenye ne ziva ku ggulu ne zigwa ku nsi, ng'ebibala by'omuti omutiini ebitannayengera bwe bikunkumuka wansi nga kibuyaga ow'amaanyi agunyeenyezza.

[14] Eggulu nalyo ne livaawo ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwako. Buli lusozi na buli kizinga ne biggyibwa mu bifo byabyo.

[15] Bakabaka b'ensi, n'abakungu, n'abakulu b'amagye, n'abagagga, n'ab'amaanyi, n'abantu bonna, abaddu n'ab'eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi ez'oku nsozi.

[16] Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke, oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka aleme kutulaba, era mutuwonye obusungu bw'Omwana gw'Endiga.

[17] Olunaku Katonda n'Omwana gw'endiga lwe balisunguwalirako lutuuse, ani ayinza okuguma?”

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters