Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:41

[1] Awo ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja. Kyalina amayembe kkumi n'emitwe musanvu. Kyalina engule ku buli jjembe, ne ku mitwe gyakyo nga kuliko amannya agavvoola Katonda.

[2] Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng'engo, ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, akamwa kaakyo nga kali ng'ak'empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi.

[3] Ogumu ku mitwe gy'ekisolo gwali gulabika ng'ogufumitiddwa ekiwundu eky'okugutta. Naye ekiwundu ekyo eky'okugutta, ne kiwona. Ensi zonna ne zisigala nga zeewuunya ekisolo ekyo.

[4] Abantu ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo. N'ekisolo ne bakisinza, nga bwe bagamba nti: “Ani yenkana ekisolo kino, era ani ayinza okulwana nakyo?”

[5] Ekisolo ne kirekebwa okwogera eby'okwewaana n'okuvuma Katonda, era ne kikkirizibwa okuba n'obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.

[6] Ne kitandika okuvvoola Katonda, n'okwogera obubi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw'abeera, ne kivuma n'ababeera mu ggulu.

[7] Era ne kikkirizibwa okulwanyisa abantu ba Katonda n'okubawangula, era ne kiweebwa obuyinza ku bika byonna ne ku bantu bonna, ne ku nnimi zonna, ne ku mawanga gonna.

[8] Abantu bonna abali ku nsi, kwe kugamba, abo okuva ensi lwe yatondebwa, abataawandiikibwa mannya gaabwe mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga eyattibwa, balisinza ekisolo ekyo.

[9] Buli alina amatu awulire!

[10] Buli eyategekerwa okutwalibwa mu busibe, wa kusiba. Buli eyategekerwa okuttibwa n'ekitala, wa kufa kitala. Awo okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abantu ba Katonda we kutegeererwa.

[11] Awo ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka. Kyalina amayembe abiri ng'ag'omwana gw'endiga, era nga kyogera ng'ogusota.

[12] Ne kikozesa obuyinza bwonna obw'ekisolo ekyasooka, nga n'ekyo kyennyini ekyasooka kiraba. Ne kiwaliriza ensi n'abagirimu, basinze ekisolo ekyasooka, ekyawona ekiwundu ekyali ekyokukitta.

[13] Ekisolo kino ekyokubiri ne kikola ebyewuunyo. Ne kiragira omuliro ne guva mu ggulu, ne gukka ku nsi ng'abantu bonna balaba.

[14] Ne kirimbalimba abantu abali ku nsi, nga kikozesa ebyewuunyo bye kyakkirizibwa okukolera mu maaso g'ekisolo ekyasooka. Ne kibalagira okukola ekifaananyi ky'ekisolo ekyo ekyafumitibwa ekitala naye ne kisigala nga kiramu.

[15] Ekisolo kino ekyokubiri ne kikkirizibwa n'okussa omukka ogw'obulamu mu kifaananyi ekyo eky'ekisolo ekyasooka, ekifaananyi kyogere, era kissise bonna abagaana okukisinza.

[16] Abantu bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu, ekisolo ne kibawaliriza okuteekebwako akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi.

[17] Buli muntu n'agaanibwa okubaako ky'agula oba ky'atunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero ako, kwe kugamba, erinnya ly'ekisolo, oba ennamba etegeeza erinnya lyakyo.

[18] Ekyo kyetaagisa amagezi! Ow'amagezi yeetegereze amakulu g'ennamba y'ekisolo ekyo, kubanga ye nnamba etegeeza erinnya ly'omuntu. Ennamba yaakyo eri lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters