[1] Awo ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi, nga ava mu ggulu, ng'akka. Yali ayambadde ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke; amaaso ge nga gali ng'enjuba, n'ebigere bye, nga biri ng'empagi ez'omuliro.
[2] Yalina mu ngalo ze omuzingo gw'akatabo, nga mubikkule. Ekigere kye ekya ddyo n'akiteeka ku nnyanja, ekya kkono n'akiteeka ku lukalu.
[3] N'aleekaana n'eddoboozi ery'omwanguka ng'ery'empologoma ewuluguma. Bwe yaleekaana, eggulu ne libwatuka emirundi musanvu.
[4] Eggulu bwe lyabwatuka emirundi omusanvu, nali ŋŋenda okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Ebyo eggulu eribwatuse emirundi omusanvu bye lyogedde, bikuume nga bya kyama, era tobiwandiika.”
[5] Awo malayika gwe nalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu, n'agolola waggulu omukono gwe ogwa ddyo,
[6] n'alayira Katonda Nnannyinibulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu ne byonna ebirimu, n'ensi ne byonna ebirimu, n'ennyanja ne byonna ebirimu. Malayika oyo n'agamba nti: “Tewakyali kulwa.
[7] Naye mu kiseera ekyo, malayika ow'omusanvu ky'alifuuyiramu eŋŋombe ye, Katonda alituukiriza ekyama kye, nga bwe yategeeza abaweereza be abalanzi.”
[8] Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne nziramu okuliwulira nga liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo omwanjuluze, oguli mu ngalo za malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
[9] Ne ŋŋenda eri malayika, ne mmusaba ampe omuzingo gw'akatabo. N'aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye. Gujja kukukaayirira mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko, gujja kuwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
[10] Ne nzigya omuzingo gw'akatabo mu ngalo za malayika, ne ngulya. Ne guwoomerera mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki, naye bwe nagumira, ne gukaayira mu lubuto lwange.
[11] Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Oteekwa okuddamu okulanga ebyo ebiriba ku bantu abangi, ne ku mawanga, ne ku nnimi, ne ku bakabaka.”