Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:45

[1] Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba oluggi olugguddwawo mu ggulu. Era eddoboozi lye nasooka okuwulira nga livuga ng'akagombe ne liŋŋamba nti: “Yambuka wano, nkulage ebiteekwa okuddirira bino.”

[2] Amangwago Mwoyo n'anjijako, ne ndaba entebe ey'obwakabaka eteekeddwa mu ggulu, era nga ku ntebe eyo kuliko agituddeko.

[3] Oyo eyali agituddeko, ng'endabika ye afaanana ng'amayinja ag'omuwendo aga yasipero ne sarudiyo. Entebe eyo yali yeetooloddwa musoke, afaanana ng'ejjinja eriyitibwa sumaridi.

[4] Okwetooloola entebe ey'obwakabaka, waaliwo entebe ez'obwakabaka endala amakumi abiri mu nnya, nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, abambadde ebyambalo ebyeru, era nga batikkidde ku mitwe gyabwe engule eza zaabu.

[5] Mu ntebe eyo ey'obwakabaka ne muvaamu okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka. Waaliwo n'ettaala musanvu ezaaka mu maaso g'entebe eyo. Ezo gye myoyo omusanvu egya Katonda. Zek 4:2

[6] Mu maaso g'entebe eyo, waaliwo ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu, ekifaanana ejjinja eritangalijja. Ate okwetooloola entebe eyo, ku buli ludda lwayo, ng'eriyo ebiramu bina, nga mu maaso n'emabega waabyo bijjudde amaaso.

[7] Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng'empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng'ente ennume. Ekyokusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, ekyokuna nga kifaanana ng'empungu ebuuka.

[8] Buli kimu ku biramu ebyo ebina, nga kirina ebiwaawaatiro mukaaga, era ebiramu ebyo nga bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, era emisana n'ekiro, awatali kusalawo, nga bigamba nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mukama Katonda, Omuyinzawaabyonna, eyabaawo era abaawo, era ajja okubaawo!”

[9] Ebiramu ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, era omulamu emirembe n'emirembe, ne bimutenda era ne bimwebaza,

[10] bo abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, omulamu emirembe n'emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g'entebe eyo, nga bwe bagamba nti:

[11] “Mukama Katonda waffe, osaanidde okutiibwa n'okutendebwa, era n'okubeera n'obuyinza, kubanga ggwe watonda byonna, era byatondebwa ne bibaawo nga bwe wayagala.”

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters