[1] Awo ne ndaba eggulu eriggya n'ensi empya. Eggulu eryasooka n'ensi eyasooka byali biweddewo, n'ennyanja nga tekyaliwo.
[2] Ne ndaba Ekibuga Ekitukuvu, Yerusaalemu Ekiggya, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba.
[3] Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka nga lyogerera awali entebe ey'obwakabaka, nga ligamba nti: “Laba, kaakano ekisulo kya Katonda kiri mu bantu; anaabeeranga nabo. Baliba bantu be, Katonda yennyini anaabeeranga nabo, nga ye Katonda waabwe.
[4] Era alisangula buli zziga mu maaso gaabwe. Waliba tewakyali kufa nga tewakyali kunakuwala, oba okukaaba, wadde obulumi, kubanga olwo eby'edda biriba biweddewo.”
[5] Awo oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka n'agamba nti: “Kati ebintu byonna mbizza buggya.” Era n'agamba nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga bituufu, era byesigibwa.”
[6] Ate n'aŋŋamba nti: “Ebintu bino byonna kati bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, entandikwa n'enkomerero. Buli alina ennyonta, ndimuwa buwa amazzi ag'omu luzzi olw'obulamu n'anywa.
[7] “Buli awangula, alifuna ebyo. Ndiba Katonda we, ye n'aba mwana wange.
[8] Kyokka abati, n'abatakkiriza, n'aboonoonefu, n'abatemu, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo, kwe kufa okwokubiri.”
[9] Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, ebijjudde ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero, n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage Omugole, muk'Omwana gw'Endiga.”
[10] Awo Mwoyo n'anjijako, malayika n'antwala ku lusozi olunene era oluwanvu, n'andaga Yerusaalemu ekibuga ekitukuvu, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda.
[11] Okumasamasa kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo ennyo eriyitibwa yasipero, eritangalijja.
[12] Kyaliko ekisenge ekikyetoolodde era ekiwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, egiriko bamalayika kkumi na babiri, era nga giwandiikiddwako amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abayisirayeli.
[13] Ebuvanjuba kyaliko emiryango esatu, mu bukiikakkono emiryango esatu, mu bukiikaddyo emiryango esatu, n'ebugwanjuba emiryango esatu.
[14] Ekisenge ekyetoolodde ekibuga kyalina emisingi kkumi n'ebiri, nga giriko amannya g'abatume ekkumi n'ababiri, ab'Omwana gw'Endiga.
[15] Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu nga gwa kupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde.
[16] Enjuyi z'ekibuga ekyo ennya zaali zenkana: ng'obuwanvu bwakyo bwenkana n'obugazi bwakyo. Awo malayika n'apima ekibuga ekyo n'omuggo gwe, ne kiweza kilomita ng'enkumi bbiri mu bina, obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana.
[17] Era n'apima n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde, ne kiweza mita nga nkaaga obugulumivu. Ekipimo ekikozesebwa abantu, malayika kye yapimisa.
[18] Ekisenge ekyo ekyetoolodde ekibuga, kyali kizimbiddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga yasipero. Kyo ekibuga nga kya zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli.
[19] Emisingi gy'ekisenge ekyetoolodde ekibuga gyali giyooyooteddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n'amayinja aga yasipero, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kaludeedoni, ogwokuna aga simaragido,
[20] ogwokutaano aga sandonikisi, ogw'omukaaga aga sarudiyo, ogw'omusanvu aga kirisolito, ogw'omunaana aga berulo, ogw'omwenda aga topazi, ogw'ekkumi aga kirusopuraso, ogw'ekkumi n'ogumu aga yakinto, ogw'ekkumi n'ebiri aga ametisto.
[21] Ate emiryango ekkumi n'ebiri, gyali amayinja ag'omuwendo ennyo aga luulu kkumi n'abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n'ejjinja lya luulu limu. Enguudo z'ekibuga ekyo nga zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli.
[22] Mu kibuga ekyo ssaalabamu Ssinzizo, kubanga Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna era n'Omwana gw'Endiga, bo ye Ssinzizo mu kyo.
[23] Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba, wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw'Endiga ye ttaala yaakyo.
[24] Abantu b'omu nsi yonna banaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'oku nsi ne baleeta ebyobugagga byabwe mu kyo.
[25] Olunaku lwonna emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono, kubanga eyo teriba kiro.
[26] Ekitiibwa n'ebyobugagga eby'amawanga, birireetebwa mu kyo.
[27] Naye tekiriyingirwamu kintu na kimu ekitali kirongoofu, wadde omuntu n'omu akola eby'ensonyi, oba alimba. Wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga, be baliyingira mu kibuga ekyo.