Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:08

[1] Ne ndaba omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga kiwandiikiddwa munda ne kungulu, era nga kisibiddwa n'obubonero musanvu.

[2] Awo ne ndaba malayika ow'amaanyi. N'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ani asaanidde okubembula obubonero ku muzingo gw'ekitabo, n'okugwanjuluza?”

[3] Ne wataba n'omu mu ggulu ne ku nsi, wadde wansi w'ensi, ayinza okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.

[4] Nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo asaanira okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.

[5] Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti: “Tokaaba. Laba, Empologoma ow'omu Kika kya Yuda muzzukulu wa Dawudi yawangula, era asobola okubembula obubonero omusanvu, n'okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo.”

[6] Ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde wakati awali entebe ey'obwakabaka, nga yeetooloddwa ebiramu ebina, n'abakadde, ng'afaanana ng'eyattibwako. Yalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egyatumibwa mu nsi zonna.

[7] N'agenda, n'aggya omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka.

[8] Bwe yagukwata, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu abana, ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'Endiga. Buli omu yalina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane: ze ssaala z'abantu ba Katonda.

[9] Ne bayimba oluyimba oluggya nga bagamba nti: “Osaanidde okutwala omuzingo gw'ekitabo, n'okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa, era olw'okufa kwo, wanunulira Katonda abantu mu bika byonna, ne mu nnimi zonna, ne mu bantu bonna, ne mu mawanga gonna,

[10] n'obafuula Obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, ab'okufuga ensi.”

[11] Awo ne ntunula era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi, enkumi n'enkumi, obukadde n'obukadde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'ebiramu, n'abakadde.

[12] Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Omwana gw'Endiga, ggwe eyattibwa, osaanidde okubeera n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi, n'amaanyi, era osaanidde okuweebwa ekitiibwa, n'okugulumizibwa, n'okutendebwa!”

[13] Era ne mpulira buli kitonde mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi ne mu nnyanja, byonna nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka era n'Omwana gw'Endiga, atenderezebwe, aweebwe ekitiibwa; agulumizibwe, era abe n'obuyinza emirembe n'emirembe!”

[14] Ebiramu ebina ne bigamba nti: “Amiina.” N'abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama ne basinza.

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters