Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:29

[1] Ekyewuunyisa ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo omukazi ng'ayambadde enjuba, ate ng'omwezi guli wansi w'ebigere bye, ku mutwe gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi na bbiri.

[2] Yali lubuto, ng'alumwa, n'aleekaana mu bulumi obw'okuzaala.

[3] Ekyewuunyisa ekirala ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule.

[4] Omukira gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'oku ggulu, ne gukisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we.

[5] Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'akozesa omuggo ogw'ekyuma. Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.

[6] Awo omukazi n'addukira mu ddungu, mu kifo ekyateekebwateekebwa Katonda, omukazi oyo bamuliisize eyo, okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga.

[7] Olwo ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayeli ne bamalayika be ne balwanyisa ogusota. Ogusota nagwo ne gubalwanyisa ne bamalayika baagwo.

[8] Naye ogusota ne guwangulwa. Gwo ne bamalayika baagwo, ne batakkirizibwa kwongera kusigala mu ggulu.

[9] Ogusota ogwo ogunene, gwe musota ogw'edda oguyitibwa Omubi era Sitaani alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne bamalayika baagwo.

[10] Ne mpulira mu ggulu eddoboozi ery'omwanguka, erigamba nti: “Kaakano Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'obwakabaka bwe, n'obuyinza bwa Kristo we, kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu.

[11] Baganda baffe baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga, n'olw'amazima, ge baategeeza abantu, ne bawaayo obulamu bwabwe okutuuka ne ku kufa.

[12] Kale musanyuke mmwe eggulu n'abalirimu. Naye mmwe ensi n'ennyanja, zibasanze, kubanga Sitaani asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi nti alina akaseera katono!”

[13] Ogusota bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala omwana ow'obulenzi.

[14] Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke atuuke mu kifo kye mu ddungu, gy'alirabirirwa okumala emyaka esatu n'ekitundu ng'ogusota tegumutuukako.

[15] Omusota ne guwandula amazzi okuva mu kamwa kaagwo, nga gali ng'omugga, ne gagoberera omukazi, gamukulugguse.

[16] Naye ensi n'eyamba omukazi: n'eyasamya akamwa kaayo, n'emira omugga ogwava mu kamwa k'ogusota.

[17] Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwanyisa ab'omu zadde lye abaasigalawo, abo bonna abakwata ebiragiro bya Katonda ne banywerera ku ebyo Yesu bye yabategeeza.

[18] Awo ogusota ne guyimirira ku lubalama lw'Ennyanja.

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters