[1] “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza eky'omu Efeso, muwandiikire nti: “Oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, era atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, bino by'agamba nti:
[2] Mmanyi ebikolwa byo n'okufuba kwo, n'okugumiikiriza kwo. Mmanyi nga toyinza kugumiikiriza babi. Era abo abaali beeyita abatume, sso nga si batume, wabageza n'obalaba nga balimba.
[3] Olina obugumiikiriza, wagumira byonna ku lwange, n'ototerebuka.
[4] Kyokka nnina kye nkuvunaana: waleka okwagala kwe walina olubereberye.
[5] Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nja kujja gy'oli, nzigyewo ekikondo kyo eky'ettaala mu kifo kyakyo.
[6] Naye kino kye kirungi ky'olina: okyawa ebikolwa by'abagoberezi ba Nikolaawo, nange bye nkyawa.
[7] “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula ebibi, ndimuwa obuyinza okulya ku bibala by'omuti ogw'obulamu, oguli mu kifo eky'okwesiima ekya Katonda.
[8] “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Simiruna muwandiikire nti: “Ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu, bino by'agamba nti:
[9] Mmanyi okubonaabona kwo, n'obwavu bwo, kyokka oli mugagga. Mmanyi n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya, sso nga si Bayudaaya, wabula bagoberezi ba Sitaani.
[10] Totya ebyo by'ogenda okubonaabonamu. Laba, Sitaani anaatera okuteeka abamu ku mmwe mu kkomera mugezebwe, era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa ne bwe kiba kikutuusa ku kufa, nze ndikuwa engule ey'obuwanguzi.
[11] “Alina amatu, awulire ekyo Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi.
[12] “Malayika ow'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Perugamo, muwandiikire nti: “Oyo alina ekitala ekyogi ku njuuyi zaakyo zombiriri, bino by'agamba nti:
[13] Mmanyi gy'obeera, awali entebe ey'obwakabaka eya Sitaani. Kyokka onnywereddeko. Ne mu kiseera Antipa, omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa ewammwe, Sitaani gy'abeera, wasigala okyanzikiriza.
[14] “Naye nnina ebitonotono bye nkuvunaana, kubanga eyo olinayo abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okwesittaza Abayisirayeli, balye ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda, era bakole eby'obwenzi.
[15] Bw'otyo era naawe olina abagoberera okuyigiriza kw'Abanikolaawo.
[16] Kale weenenye. Bw'oteenenye, nja kujja mangu gy'oli, nnwanyise abantu abo n'ekitala eky'omu kamwa kange.
[17] “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, ndimuwa ku mannu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru, eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala, wabula oyo alifuna.
[18] “Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Tiyatira muwandiikire nti: Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, ebigere bye nga biri ng'ekikomo ekizigule, bino by'agamba nti:
[19] Mmanyi by'okola. Mmanyi okwagala kwo, n'okugumiikiriza kwo, era mmanyi nga by'okola kaakano bingi okusinga bye wakolanga olubereberye.
[20] Naye nnina kye nkuvunaana: omukazi Yezebeeli eyeeyita omulanzi, wamuleka okukyamya abagoberezi bange, ng'abayigiriza okwenda n'okulya ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda.
[21] Namuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe.
[22] “Kale njija kumuteeka ku ndiri abeere mu kubonaabona okungi wamu n'abo abaayenda naye, bwe bateenenye ebyo bye baakola naye.
[23] Era abagoberezi be ndibatta, ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo biryoke bitegeere nga nze wuuyo akebera ebirowoozo n'emitima. Buli omu ku mmwe ndimuwa ekimusaanidde, nga nsinziira ku bikolwa bye.
[24] “Naye mmwe abalala ab'omu Tiyatira, abatakkiriza kuyigiriza okwo era abatamanyi ebyo abamu bye bayita ebyama ebyomunda ennyo ebya Sitaani, mbagamba nti: sijja kubatikka buzito bulala,
[25] wabula ekyo kye mulina mukinyweze okutuusa lwe ndijja.
[26] Oyo awangula, n'akola bye ndagira okutuusa enkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga,
[27] nga nange bwe nabuweebwa Kitange. Aligafugisa omuggo ogw'ekyuma, aligaasaayasa nga ayasaayasa ebibya eby'ebbumba. Era ndimuwa emmunyeenye ey'oku makya.
[29] “Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.