[1] Awo malayika n'andaga omugga gw'amazzi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, oguva ku ntebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga,
[2] ne gukulukutira wakati w'enguudo z'ekibuga ekyo. Eruuyi n'eruuyi w'omugga ogwo, waaliwo omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala emirundi kkumi n'ebiri omwaka, nga gubala buli mwezi; amakoola gaagwo nga ga kuwonya amawanga.
[3] Eyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga, eneebeeranga omwo, era abaweereza ba Katonda banaamusinzanga.
[4] Banaalabanga amaaso ge, era erinnya lye linaabeeranga mu byenyi byabwe.
[5] Ekiro tekiriddayo kubaawo, era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala, wadde eky'enjuba, kubanga Mukama Katonda ye anaabeeranga ekitangaala kyabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe.
[6] Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino bituufu ddala, era bya mazima. Era Mukama Katonda awa abalanzi Mwoyo we, atumye malayika we, okulaga abaweereza be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
[7] “Laba, njija mangu. Wa mukisa oyo akwata ebigambo eby'obulanzi ebiri mu kitabo kino.”
[8] Nze Yowanne, nze nawulira era ne ndaba bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne nvuunama okumpi n'ebigere bya malayika eyandaga bino.
[9] Ye n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abalanzi era n'abo abakwata ebigambo ebiri mu kitabo kino. Sinza Katonda.”
[10] Era n'aŋŋamba nti: “Ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino tobikuuma mu kyama, kubanga ekiseera kiri kumpi, bibeewo.
[11] Naye nga tebinnabaawo, omwonoonyi k'ayongere okwonoona, omugwagwa asigale nga mugwagwa, akola ebituufu ayongere okukola ebituufu, n'omutuukirivu asigale nga mutuukirivu.”
[12] “Laba, njija mangu. Ndijja n'empeera nsasule buli omu, nga nsinziira ku bye yakola.
[13] Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye, era asembayo: entandikwa n'enkomerero.”
[14] Ba mukisa abo abooza ebyambalo byabwe, balyoke bakkirizibwe ku muti ogw'obulamu, era bayingire mu kibuga, nga bayita mu miryango.
[15] Naye abo aboonoonefu, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi b'abantu, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba, balibeera bweru.
[16] “Nze Yesu, ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ab'omu bibiina by'abakkiriza mu nze. Ndi muzzukulu wa Dawudi, era nsibuka mu ye. Nze mmunyeenye ey'oku makya, eyakaayakana.”
[17] Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Era buli awulira bino agambe nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Buli alumwa ennyonta ajje, era buli ayagala amazzi agawa obulamu, akkirize okugafuna awatali kusasula.
[18] Ntegeeza buli awulira ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino nti: alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
[19] Era buli alikendeeza ku bigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino, Katonda alimuggyako omugabo gwe ogw'ebibala by'omuti oguwa obulamu, n'ogw'omu kibuga ekitukuvu, ebyogerwako mu kitabo kino.
[20] Akakasa bino, agamba nti: “Weewaawo, njija mangu.” Ka kibe bwe kityo. Jjangu Mukama waffe Yesu.
[21] Mukama waffe Yesu akwatirwe ekisa abantu ba Katonda bonna. Amiina.