Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:03

[1] Ate ne ndaba ekyamagero ekirala mu ggulu, ekinene era ekyewuunyisa. Waaliwo bamalayika musanvu, nga balina ebibonyoobonyo musanvu ebisembayo, kubanga bye bimalayo obusungu bwa Katonda.

[2] Era ne ndaba ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu etabuddwamu omuliro. Ne ndaba n'abo abaawangula ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, ekyalina ennamba nga lye linnya lyakyo, nga bayimiridde ku lubalama lw'Ennyanja eyo ey'endabirwamu, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.

[3] Ne bayimba oluyimba lwa Musa, omuweereza wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'Endiga, nga bagamba nti: “Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, by'okola bikulu era byewuunyisa! Kabaka ow'emirembe n'emirembe, amakubo go matuufu era ga mazima.

[4] Mukama, ani atalikutya era atalissaamu linnya lyo kitiibwa? Ggwe wekka Ggwe mutuukirivu. Abantu b'amawanga gonna balijja ne basinziza mu maaso go, kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu, birabise.”

[5] Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba Essinzizo ery'omu ggulu nga liggule, era nga lirimu eweema ekakasa nti Katonda ali n'abantu be.

[6] Mu Ssinzizo eryo, ne muvaamu bamalayika musanvu, abalina ebibonyoobonyo omusanvu, nga bambadde engoye enjeru ezitukula, era nga beesibye mu bifuba enkoba eza zaabu.

[7] Ekimu ku biramu ebina, ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu, ebijjudde obusungu bwa Katonda, aba omulamu emirembe n'emirembe.

[8] Essinzizo ne lijjula omukka oguva mu kitiibwa kye, ne mu maanyi ge, nga tewali ayinza kuliyingiramu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu, lwe byakomekkerezebwa.

Okubikkulirwa Eri Yowanne — Chapters