[1] Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba malayika omulala ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi. Ekitiibwa kye ne kimulisa ensi.
[2] N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kigudde, Babilooni ekibuga ekinene kigudde! Kifuuse kisulo ky'emyoyo emibi; omukuŋŋaanira emyoyo emyonoonefu gyonna, lye kkuŋŋaaniro ly'ebinyonyi byonna ebibi era ebikyayibwa.
[3] Amawanga gonna gaatamiira omwenge ogw'obwenzi bwakyo. Bakabaka b'oku nsi baayenda nakyo, n'abasuubuzi b'oku nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwakyo okuyitiridde.”
[4] Ate ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Abantu bange, mukiveemu, muleme okwetaba mu bibi byakyo n'okugabana ku bibonyoobonyo byakyo,
[5] kubanga ebibi byakyo bituuse mu ggulu, ne Katonda ajjukidde ebyonoono byakyo.
[6] Mukikole bye kyabakola. Ku bikolwa byakyo, mmwe musinzeewo emirundi ebiri. Ekikopo kye kyabatabulira mmwe mukikitabulire emirundi ebiri.
[7] Gye kyakomya okwegulumiza n'okwejalabya, gye muba mukomya okukibonyaabonya n'okukikaabya, kubanga kyewaana nti: ‘Ntudde nga kabaka, siri nnamwandu era siribonaabona n'akatono.’
[8] Ebibonyoobonyo byakyo: okufa, n'okunakuwala, n'enjala, kyebiriva bikijjira olunaku lumu era ne kyokebwa omuliro, kubanga Mukama Katonda akisalira omusango okukisinga, wa maanyi.”
[9] Bakabaka b'oku nsi abaayendanga nakyo ne babeera wamu nakyo mu by'amasanyu, bwe baliraba omukka gwakyo nga kyokebwa, balikikaabira ne bakikungubagira.
[10] Baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bagamba nti: “Zikusanze, zikusanze ggwe Babilooni ekibuga ekinene! Ggwe ekibuga eky'amaanyi, ozikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!”
[11] Abasuubuzi b'oku nsi nabo bakikaabira ne banakuwala, kubanga tewakyali agula bintu byabwe.
[12] Tewakyali agula zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu; engoye eŋŋonvu eza kakobe, n'eza liiri, n'emmyufu; na buli muti ogw'akawoowo, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo ennyo; n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'amayinja amalungi.
[13] Era tewakyali agula bya kaloosa, n'ebirungo by'enva, n'obubaane, n'omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, n'envumbo; omwenge gw'emizabbibu, n'amafuta; obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'eŋŋaano; ente n'endiga, n'embalaasi n'ebigaali; abaddu n'abantu abanyagibwa mu lutalo.
[14] Abasuubuzi balikigamba nti: “Ebirungi byonna bye weegombanga okufuna bikufudde, ebyobugagga byonna n'ebyekitiibwa bikuweddeko, era tokyaddayo kubirabako n'akatono.”
[15] Abasuubuzi b'ebintu ebyo be kyagaggawaza, baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bakaaba era ne banakuwala,
[16] ne bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekyo ekinene, ekyayambalanga engoye eŋŋonvu, eza kakobe n'emmyufu; ne kitimbibwa zaabu n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu.
[17] Kifiiriddwa obugagga obwo bwonna mu ssaawa emu yokka!” Abagoba b'amaato bonna, n'abasaabaze bonna, n'abalunnyanja, na bonna abasuubulira ku nnyanja, baayimirira wala
[18] bwe baalaba omukka gwakyo nga kiggya, ne baleekaana nga bagamba nti: “Tewabangawo kibuga ekyenkana kino obunene!”
[19] Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, ne baleekaana nga bakaaba era nga bakungubaga, nga bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene era ekigagga ennyo, ekyagaggawalirwamu abalina amaato ku nnyanja. Kizikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!
[20] Ggwe eggulu sanyuka, kubanga kizikiriziddwa! Mmwe abantu ba Katonda, nammwe abatume n'abalanzi, musanyuke, kubanga Katonda akisalidde omusango ne gukisinga, olw'ebyo bye kyakola!”
[21] Awo malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'agamba nti: “Babilooni ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa bwe kityo wansi n'amaanyi mangi, ne kitaddayo kulabibwa!
[22] Ennyimba z'abakubi b'ennanga, n'ez'abayimbi, n'ez'abafuuyi b'endere n'ab'eŋŋombe, tebiriddayo kuwulirwa mu ggwe, tewaliba mugezi mu mulimu na gumu aliddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'olubengo okuddayo okuwulirwa mu ggwe.
[23] Ekitangaala ky'ettaala tekiriddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole okuddayo okuwulirwa mu ggwe. Abasuubuzi bo baali bakulu nnyo mu nsi, era obulogo bwo bwalimbalimba amawanga gonna!”
[24] Mu kyo omusaayi gw'abalanzi, n'ogw'abantu ba Katonda, n'ogwa bonna abattibwa ku nsi, mwe gwasangibwa.