Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:12

[1] Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ku lunaku olwo ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali e Yerusaalemu ne kitandika okuyigganyizibwa ennyo. Bonna okuggyako abatume, ne basaasaanira mu kitundu ky'e Buyudaaya ne Samariya.

[2] Abasajja abajjumbizi b'eddiini ne baziika Siteefano, era ne bamukungubagira nnyo.

[3] Kyokka Sawulo n'agezaako okuzikiriza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ng'ayingira mu buli nnyumba, n'akwata abasajja n'abakazi, n'abateeka mu kkomera.

[4] Awo abo abaasaasaana, ne bagenda nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda.

[5] Filipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samariya, n'ategeeza abantu baayo ku Kristo.

[6] Abantu bwe baawulira Filipo by'ayogera, ne balaba n'ebyewuunyo by'akola, bonna ne bassa nnyo omwoyo ku ebyo by'ayigiriza.

[7] Emyoyo emibi gyavanga ku bantu nga gikaaba n'eddoboozi ery'omwanguka. Era bangi abakoozimbye n'abalema, ne bawonyezebwa.

[8] Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo.

[9] Naye waaliwo omusajja erinnya lye Simooni, eyakolanga eby'obulogo mu kibuga ekyo, n'asamaaliriza Abasamariya. Yagambanga nti ye, muntu wa kitalo.

[10] Bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu baamuwuliranga, ne bagamba nti: “Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa ‘Amangi.’ ”

[11] Baamuwuliranga, kubanga okumala ebbanga ddene, yabeewuunyisanga n'eby'obulogo bye.

[12] Kyokka Filipo bwe yategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo, abasajja n'abakazi ne bakkiriza, ne babatizibwa.

[13] Ne Simooni yennyini n'akkiriza. Era bwe yamala okubatizibwa, n'abeera wamu ne Filipo. Bwe yalaba ebyamagero ebisuffu Filipo bye yakola, n'awuniikirira.

[14] Awo abatume abaali mu Yerusaalemu bwe baawulira nga mu Samariya abaayo bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yowanne.

[15] Bano bwe baatuukayo, ne basabira abakkiriza bafune Mwoyo Mutuukirivu,

[16] kubanga mu bo temwali wadde omu eyali amufunye. Baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu.

[17] Awo Peetero ne Yowanne bwe baabassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.

[18] Naye Simooni bwe yalaba ng'abatume bassa emikono ku bantu, abantu abo ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu, n'aleetera abatume ensimbi,

[19] n'agamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono, afune Mwoyo Mutuukirivu.”

[20] Kyokka Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda ng'okiguza ensimbi!

[21] Ekyo tokirinaamu mugabo, era toli wa kukigabanako, kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda.

[22] Kale weenenye ekibi kyo, weegayirire Katonda, akyayinza okukusonyiwa ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo,

[23] kubanga ndaba ng'ojjudde obuggya, era ng'oli mu nvuba ya kibi.”

[24] Simooni n'addamu Peetero nti: “Munsabire eri Mukama, ebigambo ebyo bye mwogedde waleme kubaawo na kimu ekintuukako.”

[25] Awo Peetero ne Yowanne bwe baamala okwogera ekigambo kya Katonda n'okukinyweza mu bantu, ne baddayo e Yerusaalemu, nga bagenda bategeeza abantu ab'omu byalo by'e Samariya Amawulire Amalungi.

[26] Awo malayika wa Mukama n'agamba Filipo nti: “Golokoka ogende mu bukiikaddyo, okwate ekkubo eriyita mu ddungu, era eriva e Yerusaalemu okulaga e Gaaza.”

[27] N'agolokoka n'agenda. Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja Omwetiyopiya, omulaawe, omukungu wa kabaka omukazi Kandake owa Etiyopiya, era omuwanika we omukulu. Yali azze e Yerusaalemu okusinza Katonda.

[28] Bwe yali ng'addayo, ng'atudde mu ggaali ye, era ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya,

[29] Mwoyo Mutuukirivu n'agamba Filipo nti: “Genda otuuke ku gaali eyo.”

[30] Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?”

[31] Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye.

[32] Ekitundu ky'ebyawandiikibwa kye yali asoma kigamba nti: “Yali ng'endiga etwalibwa okuttibwa; yali ng'omwana gw'endiga ogutakaaba nga bagusalako ebyoya; teyayogera kigambo na kimu.

[33] Yafeebezebwa, n'omusango gwe ne gusalirizibwa. Tewali alinnyonnyola lulyo lwe, kubanga obulamu bwe buggyiddwa mu nsi.”

[34] Omulaawe n'agamba Filipo nti: “Mbuulira, Omulanzi ayogera ku ani? Yeeyogerako yennyini oba ayogera ku mulala?”

[35] Filipo n'atandikira ku kyawandiikibwa ekyo, n'amutegeeza Amawulire Amalungi aga Yesu.

[36] Bwe beeyongera mu maaso, ne batuuka awali amazzi, omulaawe n'agamba Filipo nti: “Laba amazzi gaagano! Ekiŋŋaana okubatizibwa kiki? [

[37] Filipo n'agamba nti: ‘Oba ng'okkiriza n'omutima gwo gwonna, oyinza okubatizibwa.’ Ye n'addamu nti: ‘Nzikiriza nga Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda.’ ”]

[38] Awo n'alagira eggaali okuyimirira. Bombi, Filipo n'omulaawe, ne bakka mu mazzi, Filipo n'amubatiza.

[39] Bwe baava mu mazzi, Mwoyo wa Mukama n'atwala Filipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba, kyokka n'akwata ekkubo lye ng'ajjudde essanyu.

[40] Awo Filipo n'atuuka mu Azooto, n'ayitaayita mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaariya, ng'agenda ategeeza abantu Amawulire Amalungi.

Ebikolwa By'abatume — Chapters