Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:37

[1] Akeegugungo bwe kakkakkana, Pawulo n'atumya abakkiriza n'abagumya, n'abasiibula, n'avaayo n'agenda e Makedooniya.

[2] Bwe yamala okuyita mu bitundu ebyo, ng'agenda ababuulira ebigambo eby'okubagumya, n'atuuka e Buyonaani,

[3] n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ng'anaatera okusaabala okugenda e Siriya, Abayudaaya ne bamusalira olukwe, kyeyava asalawo okuyita e Makedooniya.

[4] N'awerekerwako Sopateri mutabani wa Puuro ow'e Beroya, ne Arisitaruuko ne Sekundo ab'e Tessalonika, ne Gaayo ow'e Derube, ne Timoteewo, ne Tukiko ne Turofimo ab'omu Asiya.

[5] Abo ne batukulembera ne batulinda mu Turoowa.

[6] Ennaku ez'emigaati egitazimbulukusiddwa bwe zaggwa, ne tusaabala okuva e Filippi. Bwe waayitawo ennaku ttaano, ne tubasisinkana mu Turoowa, gye twamala ennaku omusanvu.

[7] Awo ku lunaku olwaddirira Sabbaato, bwe twakuŋŋaana okuliira awamu ng'abooluganda Pawulo nga bwe yali ow'okusitula enkeera, n'alwawo ng'ayogera nabo okutuusa ettumbi.

[8] Mu kisenge mwe twakuŋŋaanira mwalimu ettaala nnyingi.

[9] Pawulo bwe yalwawo ng'ayogera, omulenzi erinnya lye Ewutuuko, eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi, n'awanuka mu kalina eyookusatu n'agwa wansi, ne bamuggyawo ng'afudde.

[10] Pawulo n'akka, n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Temweraliikirira, akyalimu obulamu.”

[11] Awo n'addayo waggulu, n'amenyaamenyamu omugaati n'alyako, n'ayogera nabo okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo.

[12] Omulenzi ne bamuggyawo nga mulamu, ne basanyuka nnyo.

[13] Ffe ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso gye twali ab'okuggya Pawulo nga bwe yatulagira, kubanga ye yali wa kutuukayo ng'ayita ku lukalu.

[14] Bwe yatusisinkana mu Asso, n'asaabala mu lyato ne tugenda e Mituleene.

[15] Ne tusaabala ne tuvaayo. Ku lunaku olwaddirira ne tutuuka mu maaso ga Kiyo. Ate olwaddako ne tutuuka e Samo, enkeera ne tutuuka e Mileeto.

[16] Pawulo yali ateesezza okuyita mu Efeso, aleme kulwa mu Asiya. Yayagala ayanguwe, Pentekoote bwe kiba kisobose, emusange mu Yerusaalemu.

[17] Awo Pawulo bwe yali mu Mileeto, n'atumya mu Efeso, n'ayita abakulu b'ekibiina ky'abakkiriza Kristo bamusisinkane.

[18] Bwe bajja, n'abagamba nti: “Mumanyi bulungi nga bwe nabeera nammwe okuviira ddala ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya.

[19] Naweereza Mukama n'obwetoowaze bwonna, era mumanyi nga bwe nabonaabona ennyo olw'enkwe Abayudaaya ze bansaliranga.

[20] Mumanyi nga tewali kya mugaso na kimu kye saababuulira, era kye saabayigiriza mu maaso g'abantu bonna ne mu maka gammwe.

[21] Nalabulanga Abayudaaya n'Abayonaani bakyuke okuva mu bibi byabwe, badde eri Katonda, era bakkirize Mukama waffe Yesu.

[22] Kaakano ŋŋenda e Yerusaalemu, nga mpalirizibwa mu mwoyo, nga simanyi birimbaako.

[23] Wabula Mwoyo Mutuukirivu antegeeza mu buli kibuga nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde.

[24] Naye sifaayo oba mba mulamu oba nfa, ekikulu kwe kutuukiriza omulimu Mukama Yesu gwe yankwasa, ogw'okutegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'ekisa kya Katonda.

[25] “Kaakano nze mmanyi nga mmwe mwenna, be nayitaayitangamu nga mbategeeza Obwakabaka bwa Katonda, temukyaddayo kundaba.

[26] Kyenva mbalumiriza, olwaleero nti bwe walibaawo azikirira, teguliba musango gwange,

[27] kubanga saagayaala. Nabategeeza byonna Katonda by'abaagaza.

[28] Mwekuume mmwe mwennyini, mukuume n'abantu bonna Mwoyo Mutuukirivu be yabakwasa. Mulabirirenga ekibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda kye yeefunira n'omusaayi ogugwe yennyini.

[29] “Mmanyi nti bwe ndivaawo, abantu abali ng'emisege emikambwe baliyingira mu mmwe, ne batasaasira kibiina ky'abakkiriza.

[30] Ne mu mmwe mulivaamu abantu abaliyigiriza eby'obulimba, basikirize abayigirizwa okubagoberera.

[31] Kale mwekuume, era mujjukire nga bwe namala emyaka esatu, nga siyosa ekiro n'emisana okubuulirira buli omu mu mmwe, nga bwe nkaaba n'amaziga.

[32] “Kaakano mbakwasa Katonda abakuume, n'ekigambo ekifa ku kisa kye kibayambenga kibazimbe, era kibafunyise omugabo awamu n'abo bonna abatukuzibwa.

[33] Seegombanga ffeeza oba zaabu, wadde kyambalo kya muntu n'omu.

[34] Mmwe mumanyi ng'emikono gyange gino, gye gyakolanga ebyo nze n'abo abaabanga nange bye twetaaganga.

[35] Ebyo byonna nabikola okubalaga nti bwe tutyo bwe tusaana okukolanga emirimu, tulyoke tuyambenga abateeyinza, nga tujjukira ebigambo bya Mukama Yesu, eyagamba nti: ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”

[36] Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n'afukamira nabo bonna, ne beegayirira Katonda.

[37] Bonna ne bakaaba nnyo amaziga, ne bawambaatira Pawulo, ne bamunywegera.

[38] Ekyasinga okubanakuwaza kwe kubagamba nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okumutuusa ku lyato.

Ebikolwa By'abatume — Chapters