[1] Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, Abayudaaya aboogera Oluyonaani ne beemulugunyiza bannaabwe aboogera Olwebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaaweebwanga bulungi bintu ebyagabibwanga buli lunaku.
[2] Awo abatume ekkumi n'ababiri ne bayita abayigirizwa bonna, ne babagamba nti: “Tekisaana ffe okuleka okuyigiriza ekigambo kya Katonda, ne tudda mu kugabanya ebintu.
[3] Kale abooluganda, mulonde mu mmwe abasajja musanvu be musiima, abajjudde Mwoyo Mutuukirivu n'amagezi, be tuba tukwasa omulimu ogwo.
[4] Naye ffe tujja kwemalira ku kusinza Katonda na kuyigiriza kigambo kye.”
[5] Kye baayogera ne kisanyusa ekibiina kyonna. Ne balonda Siteefano omusajja ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, ne Filipo, ne Purokoro, ne Nikanori, ne Timoone, ne Parumena, ne Nikolaawo ow'e Antiyookiya, eyali asomye Ekiyudaaya.
[6] Ne babaleeta, ne babateeka mu maaso g'abatume, ne beegayirira Katonda, era ne babateekako emikono gyabwe.
[7] Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna. Mu Yerusaalemu omuwendo gw'abayigirizwa ne gugenda nga gweyongera, ne bakabona bangi ne bafuuka abagoberezi ba Yesu.
[8] Awo Siteefano ng'ajjudde amaanyi n'ekisa Katonda kye yamukwatirwa, n'akola ebyamagero n'ebyewuunyo bingi mu bantu.
[9] Kyokka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abanunule, abaava mu Kireene, ne mu Alekisanderiya, n'abalala abaava mu Kilikiya ne mu Asiya, ne bawakana naye.
[10] Kyokka ne batamusobola, olw'amagezi ge yayogeza, nga gamuweebwa Mwoyo Mutuukirivu.
[11] Awo ne bafukuutirira abantu bagambe nti: “Twamuwulira ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.”
[12] Mu ngeri eyo ne batabangula abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka era n'abantu abalala. Ne bajja eri Siteefano, ne bamukwata, ne bamuleeta mu lukiiko.
[13] Ne baleeta abajulizi ab'obulimba abaagamba nti: “Omuntu ono bulijjo ayogera ebigambo ebivuma ekifo kino ekitukuvu era n'amateeka ga Musa,
[14] kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaareeti ajja kuzikiriza ekifo kino, akyuse n'empisa Musa ze yatuwa.”
[15] Bonna abaali mu lukiiko ne bamutunuulira, ne balaba amaaso ge nga gali ng'aga malayika.