[1] Awo Peetero ne Yowanne ne bambuka mu Ssinzizo ku ssaawa ey'omwenda ey'olweggulo, mu ssaawa ey'okusinzizaamu Katonda.
[2] Ku luggi olw'Essinzizo oluyitibwa Olulungi, waaliwo omusajja eyali omulema okuviira ddala lwe yazaalibwa. Buli lunaku baamuteekanga awo ku luggi asabirize ensimbi ku bantu abaayingiranga mu Ssinzizo.
[3] Bwe yalaba Peetero ne Yowanne nga bagenda okuyingira mu Ssinzizo, n'abasaba ensimbi.
[4] Ne bamusimba amaaso. Peetero n'amugamba nti: “Tutunuulire.”
[5] Awo n'abatunuulira, ng'asuubira nti banaabaako kye bamuwa.
[6] Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.”
[7] Awo n'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo, n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi.
[8] N'agolokoka mangu, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Ssinzizo, ng'atambula, ng'abuuka, era ng'atendereza Katonda.
[9] Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula era ng'atendereza Katonda.
[10] Ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku Luggi Olulungi olw'Essinzizo ng'asabiriza. Bonna ne bawuniikirira nnyo, era ne beewuunya olw'ekyo ekikoleddwa.
[11] Bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yowanne, abantu bonna ne basamaalirira, ne badduka ne bagenda awali Peetero ne Yowanne ku kifugi ekiyitibwa ekya Solomooni.
[12] Peetero bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Abasajja Abayisirayeli, lwaki kino kibeewuunyisa? Lwaki mututunuulira bwe mutyo? Mulowooza nti buyinza bwaffe, oba bulungi bwaffe mu maaso ga Katonda bye bisobozesezza ono okutambula?
[13] Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, ye agulumizizza omuweereza we Yesu, mmwe gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Pilaato, eyali asazeewo okumuta.
[14] Naye mmwe mwegaana omutuukirivu era atuukiriza byonna Katonda by'alagira, ne musaba okubateera omutemu.
[15] Mwatta oyo awa bonna obulamu, kyokka Katonda n'amuzuukiza. Era ffe kino tukikakasa.
[16] Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba.
[17] “Kale nno abooluganda, mmanyi nga mmwe, awamu n'abafuzi bammwe, bye mwakola Yesu, mwabikola mu butamanya.
[18] Mu byo Katonda n'atuukiriza ebyo bye yayogeza abalanzi be bonna ab'edda, abaalanga ku Kristo we nti alibonyaabonyezebwa.
[19] Kale nno mwenenye, mudde eri Katonda, ebibi byammwe bisonyiyibwe,
[20] Katonda alyoke awenga emitima gyammwe okuwummula, era abatumire Kristo gwe yabategekera edda, ye Yesu.
[21] Kristo oyo ateekwa okubeera mu ggulu okutuusa ebintu byonna lwe birizzibwa obuggya, nga Katonda bwe yayogerera mu balanzi be abatukuvu abaaliwo edda.
[22] Musa yagamba nti: ‘Mukama Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze. Mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.
[23] Kyokka buli muntu ataliwulira mulanzi oyo, aliggyibwa mu bantu ba Katonda, n'azikirizibwa.’
[24] Era abalanzi bonna abaayogera, okuva ku Samweli n'abaamuddirira, ennaku zino baaziranga.
[25] Ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu balanzi, byammwe. Era n'endagaano gye yalagaana ne bajjajjammwe, yakolerwa mmwe. Yagamba Aburahamu nti: ‘Mu bazzukulu bo, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.’
[26] Kale Katonda bwe yalonda omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa ng'abakyusa mwenna okuva mu bibi byammwe.”