Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:17

[1] Bwe waayitawo ennaku ttaano, Ssaabakabona Ananiya n'agenda n'abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, ne munnamateeka omu ayitibwa Terutuulo, ne bawawaabira Pawulo eri omufuzi.

[2] Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atandika okumulumiriza bw'ati: “Oweekitiibwa ennyo Felikisi, obukulembeze bwo obw'amagezi butuleetedde obutebenkevu, era buluŋŋamizza ebintu bingi.

[3] Ekyo tukisiima bulijjo era mu buli kifo, nga tukwebaliza ddala nnyo.

[4] Naye obutakulwisa nnyo, nkusaba otuwulirize katono olw'ekisa kyo.

[5] “Omusajja ono twamuzuula nga muntu wa mutawaana. Ajeemesa Abayudaaya abali mu buli kifo, era ye mukulembeze w'ekibiina kya Banazaareeti.

[6] Yagezaako n'okwonoona Essinzizo ne tumukwata, [tumusalire omusango ng'amateeka gaffe bwe gali.

[7] Kyokka omukulu w'abaserikale Lusiya n'ajja n'amutuggyako lwa maanyi, n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli.]

[8] Naawe wennyini bw'onoomubuuza ojja kumanya ebifa ku ebyo byonna bye tumuvunaana.”

[9] Abayudaaya nabo ne bamuwagira nti bwe bityo bwe biri.

[10] Pawulo, omufuzi bwe yamuwenya okwogera, n'agamba nti: “Ssebo mmanyi ng'omaze emyaka mingi ng'olamula abantu b'eggwanga lino. Njija kuwoza n'obuvumu.

[11] “Ggwe wennyini bw'onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nnyambuka e Yerusaalemu okusinza.

[12] Tebansanga nga mpakana na muntu n'omu mu Ssinzizo, oba mu kkuŋŋaaniro oba mu kifo ekirala kyonna mu kibuga, nga nsasamaza abantu.

[13] Era tebayinza kukuwa bukakafu bw'ebyo bye bannumiriza kaakano.

[14] Wabula njatula kino mu maaso go nti nsinza Katonda wa bajjajjaffe, nga ngoberera Ekkubo bo lye bayita ekkyamu. Era nzikiriza ebyo byonna ebiri mu Mateeka ga Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi.

[15] Nnina essuubi mu Katonda nabo bennyini lye balina nti abalungi n'ababi balizuukira,

[16] kyenva nnyiikira bulijjo okuba n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu.

[17] “Bwe waayitawo emyaka mingi, ne ŋŋenda mu Yerusaalemu okutwalira abaavu ab'omu ggwanga lyange eby'okubayamba, n'okuwaayo ebirabo.

[18] Bwe nali nga nkola ebyo ne bansanga mu Ssinzizo, nga mmaze okukola omukolo ogw'okutukuzibwa. Saalina kibiina kya bantu, era tewaaliwo luyoogaano. Kyokka waaliwo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya,

[19] be bandisaanye okuba wano mu maaso go, bannumirize oba nga balina kye banvunaana.

[20] Oba bano bennyini abali wano boogere oba nga balina omusango gwe baazuula ku nze bwe nawozesebwa mu lukiiko lwabwe,

[21] okuggyako kino ekimu kyokka kye nayogera nga nnyimiridde mu bo nti: ‘Mumpozesa olwaleero, olw'okwogera ku kuzuukira kw'abafu.’ ”

[22] Naye kubanga Felikisi yali amanyi eby'Ekkubo eryo, n'ayimiriza omusango ng'agamba nti: “Lukiya omukulu w'abaserikale bw'alijja, ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”

[23] N'alagira omukulu w'ekibinja ky'abaserikale okukuuma Pawulo nga musibe, wabula ng'alekerwa eddembe era nga tewali mukwano gwe n'omu aziyizibwa kumuweereza.

[24] Bwe waayitawo ennaku, Felikisi n'ajja ne Durusila mukazi we Omuyudaaya. N'atumya Pawulo n'amuwuliriza ng'ayogera ku bigambo by'okukkiriza Kristo Yesu.

[25] Kyokka Pawulo bwe yali ng'annyonnyola ku butuukirivu ne ku muntu okwefuga, ne ku lunaku Katonda lw'agenda okusalirako omusango, Felikisi n'atya, n'agamba nti: “Kaakano genda, bwe ndifuna ebbanga ndikuyita.”

[26] Era muli yali asuubira nti Pawulo anaabaako ky'amuwa. Kyeyavanga amuyita emirundi emingi anyumye naye.

[27] Bwe waayitawo emyaka ebiri, Porukiyo Festo n'atwala obukulu bwa Felikisi. Felikisi oyo olw'okwagala asiimibwe Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe.

Ebikolwa By'abatume — Chapters