[1] Festo bwe yatuuka mu kitundu kye, n'amala ennaku ssatu, n'ava e Kayisaariya n'ayambuka e Yerusaalemu.
[2] Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamutegeeza bye bavunaana Pawulo. Ne basaba Festo ono
[3] abakwatirwe ekisa, Pawulo aleetebwe e Yerusaalemu. Baali bategese olukwe okuttira Pawulo mu kkubo.
[4] Festo n'addamu nti: “Pawulo akuumirwa mu Kayisaariya, era nze njija kuddayo mangu.
[5] Kale abakulembeze mu mmwe bagende nange, oba ng'omusajja oyo yakola ekintu ekitasaana, bamulumirize.”
[6] Festo bwe yamala nabo ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaariya. Olunaku olwaddirira, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi, n'alagira baleete Pawulo.
[7] Bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemu ne bayimirira nga bamwetoolodde, ne bamulumiriza emisango mingi era eminene, gye bataasobola kukakasa.
[8] Pawulo ne yeerwanako n'agamba nti: “Sikolanga kintu na kimu ekimenya amateeka g'Abayudaaya, oba ekyonoona Essinzizo, wadde okujeemera Kayisaari.”
[9] Festo olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'agamba Pawulo nti: “Oyagala okugenda e Yerusaalemu owozesebwe eyo emisango gino mu maaso gange?”
[10] Pawulo n'agamba nti: “Nnyimiridde mu maaso g'entebe ya Kayisaari ey'obulamuzi, era we nteekwa okuwozesebwa. Sirina kintu na kimu kye nasobya ku Bayudaaya, nga naawe bw'omanyidde ddala obulungi.
[11] Oba nga namenya etteeka, ne nkola ekintu ekinsaanyiza okuweebwa ekibonerezo eky'okuttibwa, sigaana kufa. Naye oba nga bye bannumiriza si bya mazima, tewali ayinza kumpaayo gye bali. Njulidde Kayisaari.”
[12] Awo Festo bwe yamala okuteesaamu n'ab'olukiiko n'addamu nti: “Ojulidde Kayisaari, kale eri Kayisaari gy'oligenda.”
[13] Bwe waayitawo ennaku ntonotono, Kabaka Agripa ne mukazi we Berunike ne bajja e Kayisaariya okwaniriza Festo.
[14] Bwe baamalayo ennaku eziwera, Festo n'ayogera ku Pawulo, n'agamba nti: “Wano waliwo omusajja, Felikisi gwe yaleka nga musibe.
[15] Bwe nagenda e Yerusaalemu, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga ly'Abayudaaya ne bamulumiriza, ne basaba mmusalire omusango okumusinga.
[16] Nze ne mbaddamu nti: ‘Si mpisa y'Abarooma okusalira omuntu omusango okumusinga, nga tannasisinkana na bamuwawaabira, n'asobola okwerwanako mu musango gwe bamuvunaana.’
[17] “N'olwekyo bwe bajja wano, ssaalwa. Ku lunaku olwaddirira, ne ntuula mu ntebe ey'obulamuzi, ne ndagira baleete omusajja oyo.
[18] Abamuvunaana bwe baayimirira ne batamuvunaana musango na gumu omubi, nga nze bwe nali ndowooza.
[19] Wabula baawakana naye ku bintu ebimu ebifa ku ddiini yaabwe, ne ku muntu Yesu eyafa, Pawulo ye gw'ategeeza abantu mulamu.
[20] “Bwe nasoberwa ku bigambo ebyo, ne mmubuuza oba ng'ayagala okugenda e Yerusaalemu awoleze eyo emisango egyo.
[21] Kyokka Pawulo n'ajulira, n'asaba akuumibwe okutuusa Kayisaari lw'alimusalira omusango. Nze kwe kulagira akuumibwe okutuusa lwe ndimuweereza ewa Kayisaari.”
[22] Agripa n'agamba Festo nti: “Nange nandyagadde okuwulira omuntu oyo.” Festo n'addamu nti: “Onoomuwulira enkya.”
[23] Enkeera Agripa ne Berunike ne bajjira mu kitiibwa kinene, ne bayingira mu kifo awasalirwa emisango, nga bali wamu n'abakulu b'abaserikale n'abantu abeekitiibwa mu kibuga ekyo. Festo n'alagira, Pawulo n'aleetebwa.
[24] Awo Festo n'agamba nti: “Kabaka Agripa, era nammwe mwenna abali naffe wano, mulaba omusajja ono, Abayudaaya bonna gwe bansaba mu Yerusaalemu ne wano, nga baleekaana nti: ‘Tasaana kuba mulamu!’
[25] Naye nze nalaba nti talina kye yakola kimusaanyiza kuttibwa. Kyokka bwe yajulira Kayisaari, ne nsalawo okumuweerezaayo.
[26] Wabula sirina kikakafu kye nnaawandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta mu maaso gammwe, naddala mu maaso go Kabaka Agripa. Bw'anaamala okubuuzibwa, ndyoke nfune kye mpandiika,
[27] kubanga ndaba nga si kituufu okuweereza omusibe n'otolaga bimuvunaanibwa.”