Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:42

[1] Awo Apollo bwe yali mu Korinto, Pawulo n'ayita mu bitundu eby'engulu, n'atuuka mu Efeso, n'asangayo abamu ku bakkiriza.

[2] N'ababuuza nti: “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutuukirivu?” Ne bamuddamu nti: “Tetuwuliranganako nti waliwo ne Mwoyo Mutuukirivu.”

[3] Ye n'ababuuza nti: “Kale okubatizibwa kwammwe kwali kwa ngeri ki?” Ne bamuddamu nti: “Okwo Yowanne kwe yaleeta.”

[4] Pawulo n'abagamba nti: “Yowanne yabatiza abantu nga ke kabonero akalaga nti beenenyezza, ng'abagamba bakkirize oyo amuvaako emabega, ye Yesu.”

[5] Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.

[6] Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutuukirivu n'abakkako, ne boogera ennimi, ne balanga.

[7] Bonna awamu baali abasajja nga kkumi na babiri.

[8] Awo Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayogera n'obuvumu, ng'awaanyisaganya nabo ebirowoozo, ng'agezaako okubakkirizisa ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda. N'amala emyezi esatu ng'akola bw'atyo.

[9] Naye abamu bwe bafuuka abakakanyavu ne bagaana okukkiriza, era ne bavumanga Ekkubo lya Mukama mu maaso g'abantu, n'abavaako, n'agenda n'abayigirizwa, n'ayogereranga mu ssomero lya Turaano buli lunaku.

[10] N'akolanga bw'atyo okumala emyaka ebiri. Abantu bonna ab'omu Asiya, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bawulira ekigambo kya Mukama.

[11] Katonda n'akozesanga Pawulo ebyamagero bingi.

[12] Ebitambaala n'engoye ebyavanga ku mubiri gwe byatwalirwanga abalwadde ne bawonyezebwa, n'emyoyo emibi ne gibavaako.

[13] Awo Abayudaaya abamu abaatambulatambulanga nga bagoba emyoyo emibi ku bantu, ne beetulinkiriza okukozesa erinnya lya Mukama Yesu okugigoba, nga bagigamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw'ategeeza abantu.”

[14] Waaliwo abaana musanvu aba kabona omukulu Omuyudaaya, erinnya lye Sukeva, abaakola ekyo.

[15] Naye omwoyo omubi ne gubaddamu nti: “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe be ani?”

[16] Awo omuntu eyaliko omwoyo omubi n'ababuukira, n'abasinza amaanyi n'abawangula, ne badduka nga bali bwereere, nga baliko ebiwundu.

[17] Ekyo ne kimanyibwa abantu bonna, Abayudaaya n'Abayonaani ab'omu Efeso. Bonna ne bajjula entiisa, erinnya lya Mukama Yesu ne liweebwa ekitiibwa.

[18] Bangi ku bakkiriza ne bajja, ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu.

[19] Era bangi ku abo abaakolanga eby'obulogo ne bakuŋŋaanya wamu ebitabo byabwe, ne babyokya ng'abantu bonna balaba. Omuwendo gw'ensimbi ezibigula bwe gwabalirirwa, ne guweza ebitundu bya ffeeza emitwalo etaano.

[20] Bwe kityo ekigambo kya Mukama ne kigenda nga kyeyongera okubuna n'okunywera.

[21] Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa okuyita mu Makedooniya ne mu Akaya, alyoke agende e Yerusaalemu. N'agamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo, nteekwa okugenda n'e Rooma.”

[22] N'atuma e Makedooniya babiri ku abo abaamuyambanga, Timoteewo ne Erasto, kyokka ye n'agira ng'akyasigadde mu Asiya.

[23] Mu kiseera ekyo ne wabaawo akeegugungo ak'amaanyi mu Efeso, olw'Ekkubo lya Mukama.

[24] Omusajja ayitibwa Demetiriyo omuweesi, eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa lubaale omukazi Arutemi, omulimu gwe gwaleeteranga abaweesi obugagga bungi.

[25] Oyo n'akuŋŋaanya abaweesi bonna abaakolanga omulimu ogwo, n'agamba nti: “Bannange, mumanyi ng'obugagga bwaffe buva mu mulimu guno.

[26] Naye mulaba era muwulira nga Pawulo asenzesenze, era akyusizza abantu bangi, si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna, ng'agamba nti: ‘Abakolebwa abantu si Katonda.’

[27] Tuli mu kabi, si lwa mulimu gwaffe kunyoomebwa kyokka, naye abantu bajja kunyoomoola essabo lya lubaale omukazi Arutemi oweekitiibwa, asinzibwa Asiya yonna n'ensi endala zonna, era ekitiibwa kye kijja kuggwaawo.”

[28] Bwe baawulira ebyo ne bajjula obusungu, ne baleekaana nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”

[29] Awo ekibuga kyonna ne kibuna akatabanguko. Abantu ne bakwata Gaayo ne Arisitaruuko ab'e Makedooniya abaatambulanga ne Pawulo. Abantu bonna ne bafubutuka, ne beeyiwa mu kifo ky'emizannyo.

[30] Pawulo n'ayagala okugenda eri ekibiina ky'abantu, kyokka abayigirizwa ne bamugaana.

[31] N'abamu ku bakungu ab'omu Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamusaba aleme kugezaako kugenda mu kifo ky'emizannyo,

[32] kubanga abantu baali mu kajagalalo, nga baleekaana, abamu nga boogera kino, abalala nga boogera kiri, era bangi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyizza.

[33] Ne baggya Alekizanda mu kibiina ky'abantu, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Awo Alekizanda n'abawenya n'omukono, yennyonnyoleko eri abantu.

[34] Naye bwe baamanya nga Muyudaaya ne baleekaanira wamu okumala essaawa nga bbiri, nga bagamba nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”

[35] Omuwandiisi w'ekibuga bwe yasirisa abantu, n'agamba nti: “Abasajja Abeefeso, ani atamanyi ng'ekibuga ky'Abeefeso kye kikuuma essabo lya Arutemi Oweekitiibwa, awamu n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu?

[36] Kale ekyo nga bwe watali ayinza kukiwakanya, musaanidde okukkakkana, muleme kukola kintu kyonna mu kwanguyiriza,

[37] kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo, era abatavumye lubaale waffe omukazi.

[38] Kale oba nga Demetiriyo ne baweesi banne balina gwe bavunaana, enkiiko weeziri n'abalamuzi weebali, eyo gye baba bawoleza.

[39] Naye oba nga mulina ekirala kye muvunaana, kinaatereezebwa mu lukuŋŋaana olubaawo bulijjo,

[40] kubanga tuyinza okuvunaanibwa olw'akeegugungo kano aka leero. Tetulina nsonga gye tuyinza kuwa olw'olukuŋŋaana luno.”

[41] Bwe yamala okwogera ebyo, n'agumbulula abantu.

Ebikolwa By'abatume — Chapters