Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:41

[1] Awo Pawulo n'atuuka e Derube n'e Lisitura. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoteewo, nga nnyina Muyudaaya omukkiriza mu Kristo, kyokka kitaawe nga Muyonaani.

[2] Abooluganda bonna, ab'omu Derube ne Yikoniyo, nga basiima nnyo Timoteewo oyo.

[3] Pawulo n'ayagala okugenda naye. Kyeyava amukomola, kubanga Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo bonna, baali bamanyi nga kitaawe yali Muyonaani.

[4] Awo ne bayita mu bibuga, nga bakuutira abakkiriza, okukwata ebyasalibwawo abatume n'abantu abakulu abaali mu Yerusaalemu.

[5] Olwo ebibiina by'abakkiriza Kristo ne binywezebwa mu kukkiriza, era abantu ne babyegattangako buli lunaku.

[6] Ne bayita mu kitundu ky'e Furigiya n'e Galatiya, nga Mwoyo Mutuukirivu abagaanyi okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Asiya.

[7] Bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu kitundu eky'e Bitiniya, kyokka Mwoyo wa Yesu n'atabakkiriza.

[8] Bwe baayita ku Musiya, ne baserengeta e Turoowa.

[9] Ekiro Pawulo n'alabikirwa, n'alaba omuntu ow'omu Makedooniya ng'ayimiridde amwegayirira nti: “Jjangu e Makedooniya otuyambe.”

[10] Bwe yamala okulabikirwa, amangwago ne tusala amagezi tugende e Makedooniya, nga tutegedde nti Katonda atuyise okutegeeza abaayo Amawulire Amalungi.

[11] Ne tusaabala okuva e Turoowa, ne tugoba e Samoturakiya. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Neyapoli.

[12] Bwe twavaayo, ne tutuuka e Filippi, ekibuga ekikulu eky'e Makedooniya; ettwale ly'Abarooma. Ne tumalayo ennaku ntonotono.

[13] Ku lunaku lwa Sabbaato ne tufuluma mu kibuga, ne tugenda ku mabbali g'omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo gye basinziza Katonda. Ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye.

[14] Omu ku bo, erinnya lye Lidiya, eyava mu kibuga Tiyatira, n'atuwuliriza. Yali mutunzi wa ngoye eza kakobe, era ng'assaamu Katonda ekitiibwa. Mukama n'aggula omutima gwe, n'akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera.

[15] Ye n'ab'omu nnyumba ye bwe baamala okubatizibwa, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Oba nga mulabye nti nzikiriza Mukama mu mazima, mujje mubeere ewange.” N'atukkirizisa.

[16] Awo olwatuuka, bwe twali tugenda mu kifo eky'okusinzizaamu Katonda, omuwala omuzaana eyalagulanga, era eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula kwe, n'atusisinkana.

[17] Omuwala oyo n'atugoberera nga bw'awowoggana nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Atenkanika, ababategeeza nga bwe muyinza okulokolebwa.”

[18] Ekyo n'akiddiŋŋananga okumala ennaku nnyingi. Naye Pawulo bwe yanakuwala, n'akyuka n'agamba lubaale nti: “Mu linnya lya Yesu nkulagira, muveeko.” Amangwago lubaale n'amuvaako.

[19] Bakama b'omuwala bwe baalaba ng'essuubi ery'okufuna ebintu liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siila, ne babawalaawala ne babatwala mu mbuga eri ab'obuyinza.

[20] Bwe baabatuusa eri abalamuzi, ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya era basasamaza ekibuga kyaffe.

[21] Bayigiriza empisa ffe Abarooma ze tutayinza kukkiriza wadde okugoberera.”

[22] Ekibiina ky'abantu nakyo ne kyegatta mu kubakuba. Abalamuzi ne bayuza engoye za Pawulo ne Siila, era ne balagira bakubwe emiggo.

[23] Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo.

[24] Omukuumi w'ekkomera bwe yamala okulagirwa, n'abateeka mu kkomera eryomunda, amagulu gaabwe n'agassa mu nvuba.

[25] Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira.

[26] Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka.

[27] Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera nzigule, n'asowola ekitala kye yette, ng'alowooza nti abasibe babombye.

[28] Kyokka Pawulo n'aleekaana nnyo nti: “Teweekolako kabi! Ffenna weetuli wano.”

[29] Awo omukuumi w'ekkomera n'atumya ettaala, n'ayingira mangu, n'agwa kumpi n'ebigere bya Pawulo ne Siila nga bw'akankana.

[30] N'abafulumya ebweru n'ababuuza nti: “Bassebo, kiki kye ŋŋwanira okukola ndyoke ndokolebwe?”

[31] Ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama Yesu, onoolokolebwa ggwe, n'ab'omu nnyumba yo bonna.”

[32] Awo ne bamutegeeza awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna ekigambo kya Mukama.

[33] Mu kiro ekyo kyennyini, omukuumi w'ekkomera n'abatwala, n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna.

[34] Olwo n'atwala Pawulo ne Siila mu nnyumba ye, n'abawa ebyokulya. N'asanyuka nnyo awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna, olw'okukkiriza Katonda.

[35] Obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale baabwe mu kkomera, nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.”

[36] Awo omukuumi w'ekkomera n'agamba Pawulo nti: “Abalamuzi balagidde muteebwe. Kale kaakano mufulume, mugende mirembe.”

[37] Kyokka Pawulo n'abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tetuwozezza na kuwoza, sso nga tuli Barooma. Ate kaakano batuta batya mu kyama? Nedda. Bo bennyini be baba bajja batute.”

[38] Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi bwe baawulira nga Pawulo ne Siila Barooma, ne batya.

[39] Ne bajja ne babeetondera, ne babafulumya ebweru w'ekkomera ne babeegayirira bave mu kibuga.

[40] Awo Pawulo ne Siila ne bava mu kkomera, ne bagenda ewa Lidiya. Bwe baamala okulaba abooluganda n'okubagumya, ne bavaayo.

Ebikolwa By'abatume — Chapters