Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:52

[1] Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'Olukiiko, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda, neegendereza okutuusa ku lunaku lwa leero nga sirina kinnumya mutima mu maaso ga Katonda.”

[2] Awo Ssaabakabona Ananiya n'alagira abo abaali okumpi ne Pawulo bamukube emimwa.

[3] Pawulo n'agamba nti: “Ggwe ekisenge ekyasiigibwa erangi enjeru, Katonda alikukuba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu mateeka, ate n'olagira okunkuba sso ng'amateeka gakigaana.”

[4] Abo abaali bayimiridde okumpi ne bagamba nti: “Ovuma Ssaabakabona wa Katonda!”

[5] Pawulo n'agamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye Ssaabakabona, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: ‘Toyogeranga bubi ku mukulu wa ggwanga lyo.’ ”

[6] Pawulo bwe yamanya ng'abali mu lukiiko, abamu Basaddukaayo, abalala nga Bafarisaayo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, mwana w'Abafarisaayo. Mpozesebwa lwa kubanga nnina essuubi ery'okuzuukira kw'abafu.”

[7] Bwe yayogera ekyo, ne wasitukawo empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo. Olukiiko ne lwesalamu,

[8] kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, tewali bamalayika, wadde emyoyo. Naye Abafarisaayo byonna ebyo babikkiriza.

[9] Ne wabaawo okuyoogaana kungi, era abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana n'amaanyi nga bagamba nti: “Tetulaba kibi ku muntu ono. Kyandiba nga malayika oba omwoyo, gwe gwogedde naye.”

[10] Empaka bwe zaakalambira, omukulu w'abaserikale n'atya nti sikulwa nga Pawulo bamukutulamu. N'alagira abaserikale baserengete mu kibiina ky'abantu, bamubaggyeko lwa maanyi, bamutwale mu kigo.

[11] Mu kiro ekyaddirira, Mukama n'ayimirira awali Pawulo n'amugamba nti: “Guma omwoyo, kubanga nga bwe wammanyisa mu Yerusaalemu, era bw'otyo bw'oteekwa okummanyisa ne mu Rooma.”

[12] Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bateesa ne beerayirira nga bwe bagamba nti tebajja kulya kantu konna wadde okunywa, nga tebanatta Pawulo.

[13] Abaakola olukwe olwo bwe batyo, baali basukka mu makumi ana.

[14] Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnaba kutta Pawulo.

[15] Kale nno kaakano mmwe n'olukiiko, mutume eri omukulu w'abaserikale aserengese Pawulo gye muli, nga muli ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka gye muli.”

[16] Kyokka mutabani wa mwannyina Pawulo n'ategeera olukwe lwabwe. N'agenda n'ayingira mu kigo, n'alabula Pawulo.

[17] Pawulo n'ayita omu ku bakulu b'ebibinja by'abaserikale, n'amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omukulu w'abaserikale, alina ky'ayagala okumubuulira.”

[18] N'amutwala, n'amutuusa eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Omusibe Pawulo ampise, n'ansaba ndeete omuvubuka ono gy'oli, mbu alina ky'ayagala okukugamba.”

[19] Omukulu w'abaserikale n'akwata omuvubuka ku mukono, n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?”

[20] Ye n'agamba nti: “Abakulu b'Abayudaaya bateesezza okukusaba oserengese Pawulo mu lukiiko enkya, nga bali ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako.

[21] Kyokka ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja abasoba mu makumi ana, abajja okumuteega. Beerayiridde obutalya kantu konna wadde okunywa, nga tebannamutta. Era kaakano beeteeseteese, balindirira ky'onoogamba.”

[22] Omukulu w'abaserikale n'amusiibula, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako omuntu n'omu gw'otegeeza nti ombuulidde ebigambo bino.”

[23] Awo omukulu w'abaserikale n'ayita babiri ku bakulu b'ebibinja n'agamba nti: “Mutegeke abaserikale ebikumi bibiri wamu n'ab'embalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaariya ku ssaawa ssatu ez'ekiro.

[24] Era mutegeke embalaasi ze banaatwalirako Pawulo, bamutuuse eri omufuzi Felikisi.”

[25] Olwo n'awandiika ebbaluwa egamba nti:

[26] “Kulawudiyo Lusiya alamusa omufuzi oweekitiibwa ennyo Felikisi.

[27] Abayudaaya baakwata omusajja oyo, era baali bagenda kumutta. Bwe nategeera nga Murooma, ne ŋŋenda n'abaserikale, ne mmubaggyako.

[28] Olw'okwagala okumanya kye bamuvunaana ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.

[29] Ne nzuula nti talina kye yakola kimusaanyiza kufa, wadde okusibibwa mu kkomera.

[30] Bwe nategeezebwa nti Abayudaaya baali bategese olukwe okumutta, ne nsalawo okumuweereza gy'oli. Ne ndagira abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.”

[31] Abaserikale ne bakola nga bwe baalagirwa. Ne batwala Pawulo ekiro ekyo, ne bamutuusa mu Antipatiri.

[32] Ku lunaku olwaddirira, ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye, bo ne baddayo mu kigo.

[33] Bwe baamutuusa e Kayisaariya, ne bawa omufuzi ebbaluwa, ne bamukwasa ne Pawulo.

[34] Bwe yagisoma, n'abuuza ekitundu Pawulo gy'asibuka. Bwe yamanya nga w'e Kilikiya,

[35] n'amugamba nti: “Omusango gwo ndiguwulira abakuvunaana nga bazze.” N'alagira, Pawulo akuumirwe mu lubiri lwa Herode.

Ebikolwa By'abatume — Chapters