[1] Awo Pawulo ne Barunaba bwe baatuuka mu Yikoniyo, era ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne bayigiriza. Abantu bangi nnyo, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bakkiriza.
[2] Naye Abayudaaya abamu abaagaana okukkiriza, ne bassa omutima omubi mu b'amawanga amalala okukyawa abakkiriza.
[3] Pawulo ne Barunaba ne bamalayo ebbanga ddene nga bayigiriza n'obuvumu ebya Mukama. Era Mukama n'akakasanga bye bayigiriza ku kisa kye, ng'abakozesa ebyewuunyo n'ebyamagero.
[4] Abantu b'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya, abalala ne babeera ku ludda lw'abatume.
[5] Awo ab'amawanga amalala n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe, ne beekoba okulumba abatume, n'okubakuba amayinja.
[6] Bo bwe baakitegeera, ne baddukira mu Lisitura ne Derube, ebibuga by'e Likawooniya, ne mu bitundu ebibiriraanye.
[7] Ne babeera eyo nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi.
[8] Mu Lisitura mwalimu omusajja omugongobavu w'ebigere, nga mulema okuva lwe yazaalibwa, era nga tatambulangako. Yali atudde awo,
[9] n'awulira Pawulo by'ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira n'alaba ng'akkiriza ng'ayinza okuwonyezebwa.
[10] Pawulo n'akangula ku ddoboozi n'agamba nti: “Situka oyimirire.” N'asituka mangu, n'atambula.
[11] Awo ekibiina ky'abantu bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaana n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olulikoniyo nga kigamba nti: “Balubaale basse gye tuli nga bafaanana ng'abantu!”
[12] Barunaba ne bamuyita Zeewo, Pawulo ne bamuyita Erume, kubanga ye yayogera.
[13] Awo kabona wa Zeewo, eyalina essabo mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ku nzigi z'ekibuga ente n'ebimuli eby'okubambika, ng'ayagala abantu bonna bamwegatteko okutambira.
[14] Kyokka abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira ekyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okukiwakanya, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga bwe baleekaana nti:
[15] “Bannaffe, lwaki mukola ebyo? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, ababaleetedde Amawulire Amalungi, mulyoke muleke ebyo ebitagasa, mudde eri Katonda Nnannyinibulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu.
[16] “Mu mirembe egyayita, Katonda yaleka abantu bonna ne bayisa nga bwe baayagalanga.
[17] Kyokka teyeekweka. Bulijjo yeeyolekeranga mu birungi by'akola, gamba abatonnyeseza enkuba, abaza ebibala byammwe mu biseera byabyo, abawa emmere, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.”
[18] Newaakubadde baayogera ebyo, era kata balemwe okuziyiza abantu okubatambirira.
[19] Awo Abayudaaya abamu ne bava e Lisitura ne Yikoniyo, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja. Ne bamuwalula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
[20] Kyokka abayigirizwa bwe baamwetooloola, n'asituka, n'ayingira mu kibuga. Olunaku olwaddirira, Pawulo ne Barunaba ne balaga e Derube.
[21] Pawulo ne Barunaba ne bategeeza abantu mu Derube Amawulire Amalungi, ne bafuna abayigirizwa bangi. Olwo ne baddayo mu Lisitura ne mu Yikoniyo, ne mu Antiyookiya eky'e Pisidiya,
[22] nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, era nga babakuutira banyweze okukkiriza kwabwe. Ne babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
[23] Bwe baamala okuteeka abakulembeze mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo, n'okusinza Katonda era nga bwe basiiba, ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza.
[24] Ne bayita mu Pisidiya, ne batuuka mu Panfiliya.
[25] Ne bategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Peruga, ne baserengeta mu Ataliya.
[26] Bwe baavaayo, ne basaabala ne baddayo mu Antiyookiya, mu kusooka bannaabwe gye baabakwasiza Katonda abayambe, bwe baali nga bagenda okutandika omulimu guno, gwe baali baakamaliriza.
[27] Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa, era nga bw'asobozesezza ab'amawanga amalala okukkiriza.
[28] Ne bamalayo ebbanga ddene nga bali n'abayigirizwa.