[1] Agripa n'agamba Pawulo nti: “Okkiriziddwa okuwoza.” Awo Pawulo n'agolola omukono, n'atandika okuwoza nti:
[2] “Kabaka Agripa, neesiimye nnyo okuwoleza mu maaso go olwaleero ebyo byonna Abayudaaya bye banvunaana,
[3] n'okusingira ddala kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya, n'ebyo bye bawakanamu, n'enjawukana zaabwe. Kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
[4] “Abayudaaya bonna bamanyi obulamu bwange okuva mu buto. Bamanyi nga bwe nabeera okuva olubereberye nga ndi mu bantu bange, era ne bwe nali mu Yerusaalemu.
[5] Okuva edda bamanyi, era singa baagala, bayinza okukakasa nga okuva olubereberye nali mu kibiina ekisingira ddala okukwata eddiini yaffe, nali Mufarisaayo.
[6] Kaakano nnyimiridde wano okusalirwa omusango kubanga nsuubira ekyo Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe,
[7] era ebika byaffe ekkumi n'ebibiri kye birindirira nga bisinza Katonda emisana n'ekiro. Olw'okusuubira bwe ntyo, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira, ayi kabaka.
[8] Lwaki mugamba nti Katonda okuzuukiza abafu kye kintu kye mutayinza kukkiriza?
[9] “Nze nzennyini nalowoozanga nti nteekwa okukola kyonna kye nsobola okuyigganya erinnya lya Yesu Omunazaareeti.
[10] Era ekyo kye nakola mu Yerusaalemu. Nafuna obuyinza okuva eri bakabona abakulu, ne nteeka abakkiriza bangi mu kkomera, era bwe baasalirwanga emisango egy'okuttibwa, nange nasiimanga.
[11] Emirundi mingi nababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna, nga mbawaliriza beegaane enzikiriza yaabwe. Ate bwe neeyongera okubasunguwalira, ne mbayigganyanga ne mu bibuga eby'ebweru.
[12] “Bwe nali ku ekyo, nga ŋŋenda e Damasiko, nga mmaze okufuna obuyinza n'ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, ayi kabaka, nga ndi mu kkubo
[13] mu budde obw'ettuntu, ne ndaba okwakaayakana okwava mu ggulu nga kusinga okwaka kw'enjuba, ne kunneetooloola nze n'abaali nange mu lugendo.
[14] Ffenna ne tugwa wansi. Ne mpulira eddoboozi eriŋŋamba mu lulimi Olwebureeyi nti: ‘Sawulo, Sawulo! Lwaki onjigganya? Kirumya ggwe okusamba ku miwunda.’
[15] Ne ŋŋamba nti: ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama n'addamu nti: ‘Nze Yesu gw'oyigganya.
[16] Kyokka golokoka oyimirire. Nkulabikidde ndyoke nkufuule omuweereza wange, akakasa ebyo mw'ondabidde, n'ebyo mwe nnaakulabikiranga.
[17] Ndikuwonya abantu b'eggwanga lyo n'ab'amawanga amalala gye ndikutuma
[18] okubazibula amaaso, balyoke bave mu kizikiza, badde mu kitangaala, era bave mu buyinza bwa Sitaani, badde eri Katonda, balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe, era bafunire wamu omugabo n'abo abatukuzibwa olw'okukkiriza.’
[19] “N'olwekyo, Kabaka Agripa, saawakanya kulabikirwa okwava mu ggulu.
[20] Nasookera ku b'omu Damasiko, nzuuyo ku b'omu Yerusaalemu, ne ku b'omu Buyudaaya bwonna ne ku b'amawanga amalala, ne mbategeeza beenenye, badde eri Katonda, era bakole ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.
[21] Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Ssinzizo, ne bagezaako okunzita.
[22] Kyokka Katonda ankuumye okutuusa ku lunaku lwaleero, era nnyimiridde nga ntegeeza abakulu n'abato ebyo byennyini abalanzi ne Musa bye baayogera nti bigenda kubaawo.
[23] Baagamba nti Kristo ateekwa okubonyaabonyezebwa abe omubereberye mu kuzuukira, atuuse ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala ekitangaala eky'obulokozi.”
[24] Pawulo bwe yawoza bw'atyo, Festo n'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Pawulo olaluse! Ebingi bye wayiga bikulalusizza.”
[25] Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, siraluse. Ebigambo bye njogera bya mazima era bya magezi.
[26] Kabaka bino abimanyi era mbimubuulira nga sitya, kubanga nkakasa nti tewali na kimu ku byo ky'atamanyi, kubanga tebyakolebwa mu nkiso.
[27] Kabaka Agripa, okkiriza abalanzi? Mmanyi ng'obakkiriza.”
[28] Agripa n'agamba Pawulo nti: “Mu kaseera akatono oyagala okunsendasenda onfuule omugoberezi wa Kristo!”
[29] Pawulo n'agamba nti: “Akaseera ne bwe kaba katono oba kanene, nze kye nsaba Katonda, si ggwe wekka naye n'abo bonna abampuliriza olwaleero, bafuuke nga nze, okuggyako okusibibwa kuno.”
[30] Awo kabaka, n'omufuzi, ne Berunike, n'abalala bonna, ne basituka.
[31] Bwe baafuluma ne bagambagana nti: “Omuntu oyo takolanga kintu na kimu kimusaanyiza kufa oba kusibibwa.”
[32] Agripa n'agamba nti: “Omuntu oyo yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaari.”