Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 8:07

[1] Awo olunaku olwa Pentekoote ne lutuuka. Ku olwo, abakkiriza bonna baali bakuŋŋaanidde mu kifo kimu.

[2] Amangwago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga kuli ng'okuwuuma kw'empewo ey'amaanyi ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali batudde.

[3] Awo ne balaba ennimi eziri ng'ez'omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi ne lubeera ku buli omu ku bo.

[4] Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza.

[5] Mu Yerusaalemu mwalimu Abayudaaya, abasajja abajjumbira eddiini, abaali bavudde mu buli kitundu kya nsi.

[6] Bwe baawulira okuwuuma okwo, ne bakuŋŋaana bangi, ne basamaalirira, kubanga buli omu yawulira abakkiriza Kristo nga boogera mu lulimi lwe.

[7] Ne bawuniikirira, ne beewuunya nga bagamba nti: “Abantu bano bonna aboogera si Bayudaaya?

[8] Kale lwaki ffe ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi z'ewaffe gye twazaalirwa?

[9] Tuva mu Paruti, Mediya ne Elamu; mu Mesopotaamiya, Buyudaaya, ne mu Kapadookiya; mu Ponto ne mu Asiya;

[10] mu Furigiya ne mu Panfiliya; mu Misiri ne mu bitundu ebya Libiya okumpi ne Kireene. Abamu tuva Rooma,

[11] nga tuli Bayudaaya, awamu n'ab'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya. Era abalala bava mu Kureete ne mu Buwarabu. Kyokka ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe, eby'amaanyi Katonda by'akoze!”

[12] Bonna nga basamaaliridde era nga basobeddwa, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kiki kino?”

[13] Naye abamu ne beesekera, ne bagamba nti: “Batamidde mwenge musu!”

[14] Awo Peetero ng'ali n'abatume abalala ekkumi n'omu, n'ayimirira, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Bayudaaya bannange, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemu, muwulirize, mutegeere bye ŋŋenda okwogera.

[15] Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza, kubanga kati essaawa zikyali ssatu ez'oku makya.

[16] Wabula kino ky'ekyo omulanzi Yoweeli kye yayogera nti:

[17] ‘Katonda agamba nti: Mu nnaku ez'oluvannyuma, ndigabira abantu bonna Mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. Abavubuka bammwe balirabikirwa, n'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto.

[18] Kya mazima, mu nnaku ezo, abaddu bange n'abazaana bange ndibagabira Mwoyo wange, ne balanga ebirijja.

[19] Ndikola ebyamagero ku ggulu, n'ebyewuunyisa ku nsi. Walibaawo omusaayi n'omuliro, n'omukka ogukutte.

[20] Enjuba eribikkibwa ekizikiza, n'omwezi gulimyuka ng'omusaayi. Ebyo bye birikulembera olunaku lwa Mukama olukulu era olwekitiibwa.

[21] Era buli alikoowoola Mukama, alirokolebwa.’

[22] “Abayisirayeli, muwulire ebigambo bino. Yesu Omunazaareeti ye musajja Katonda gwe yakakasa nti ye yamutuma. Kino kyalabikira mu by'amaanyi n'ebyamagero n'ebyewuunyo, Katonda bye yamukozesa mu mmwe, nga nammwe bwe mumanyi.

[23] Yesu oyo yaweebwayo, nga Katonda bwe yali amaze okuteesa n'okumanya, ne mumukwasa abantu ababi okumukomerera ku musaalaba, ne mumutta.

[24] Kyokka Katonda yamuzuukiza, n'amuggya mu bulumi bw'okufa, kubanga okufa kwali nga tekuyinza kumunywereza ddala.

[25] Dawudi yamwogerako nti: ‘Nalaba Mukama ng'ali nange bulijjo; ng'ali kumpi nange nneme okusagaasagana.

[26] Omutima gwange kyeguva gusanyuka, n'ebigambo byange ne bijjula essanyu. Era nze wadde ndi wa kufa, nja kusigala nga nnina essuubi:

[27] kubanga tolireka mwoyo gwange magombe, era toliganya mutukuvu wo kuvunda.

[28] Wandaga amakubo agatuuka mu bulamu. Olinzijuza essanyu kubanga oli nange.’

[29] “Abooluganda, nnyinza okubategeeza ebifa ku jjajjaffe omukulu Dawudi nga sirina kutya. Dawudi oyo yafa n'aziikibwa, n'amasiro ge gali wano ewaffe n'okutuusa kati.

[30] Dawudi yali mulanzi, era yamanya Katonda kye yamusuubiza ng'alayira n'okulayira nti omu ku bazzukulu be, alisikira entebe ey'obwakabaka bwe.

[31] Era yamanya ebiribaawo, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo, ng'agamba nti: ‘Teyalekebwa magombe, era n'omubiri gwe tegwavunda.’

[32] “Yesu oyo, Katonda yamuzuukiza, era ffe tukakasa okuzuukira kwe.

[33] Bwe yamala okulinnyisibwa n'aliraana Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, era n'afuna Mwoyo Mutuukirivu eyamusuubizibwa Katonda Kitaawe, n'alyoka agaba ekirabo kye kino, kye mulabye era kye muwulira.

[34] Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo,

[35] okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ekirinnyibwako ebigere byo.’

[36] “Kale nno, abantu ba Yisirayeli bonna bamanye awatali kubuusabuusa, nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo.”

[37] Awo bwe baawulira ebyo, ne beeraliikirira nnyo, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti: “Abooluganda, tukole ki?”

[38] Peetero n'abagamba nti: “Mwenenye, era buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era munaafuna ekirabo, ye Mwoyo Mutuukirivu,

[39] kubanga kino Katonda yakibasuubiza mmwe, n'abaana bammwe, era n'abo bonna abali ewala, bonna Mukama Katonda waffe b'aliyita.”

[40] Era Peetero n'ayongera okubategeeza mu bigambo ebirala bingi, n'abagamba nti: “Mulokolebwe, mwewonye ekibonerezo ekigenda okuweebwa ab'omulembe guno omubi.”

[41] Awo abakkiriza ebigambo bye, ne babatizibwa. Ku lunaku olwo, omuwendo gw'abakkiriza ne gweyongerako abantu ng'enkumi ssatu.

[42] Ne banyiikiriranga okuyigirizibwa abatume, n'okwetaba mu nkuŋŋaana ez'okutabagana, n'okuliira awamu ng'abooluganda, era n'okusinza Katonda.

[43] Ebyamagero bingi n'ebyewuunyo ne bikolebwanga abatume, abantu bonna ne beewuunya.

[44] Bonna abakkiriza baabanga wamu, era nga bassa kimu mu byonna.

[45] Baatundanga ebyabwe, ensimbi ze baggyangamu ne bazigabiranga bonna, nga buli muntu bwe yeetaaganga.

[46] Baanyiikiranga okukuŋŋaanira mu Ssinzizo buli lunaku. Era mu maka gaabwe baaliirangamu emmere yaabwe nga bajjudde essanyu n'okukkaanya,

[47] nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Buli lunaku Mukama yabongerangako abo abaalokolebwanga.

Ebikolwa By'abatume — Chapters