Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:12

[1] Awo Yesu n'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro. Era omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze.

[2] Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamwekaliriza amaaso, balabe oba anaawonya omuntu oyo ku Sabbaato, balyoke bagende bawaabe.

[3] Yesu n'agamba ow'omukono ogukaze nti: “Situka, oyimirire wano, bonna we bayinza okukulabira.”

[4] Awo n'abuuza abaaliwo nti: “Kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba kukola bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Naye bo ne ba sirika busirisi.

[5] Yesu n'abeebunguluza amaaso ng'abasunguwalidde, era nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu oyo nti: “Wamma golola omukono gwo.” N'agugolola, ne guwonera ddala.

[6] Amangwago, Abafarisaayo ne bafuluma, ne beetaba wamu n'abawagizi ba Herode, bateese nga bwe banaazikiriza Yesu.

[7] Awo Yesu n'alaga ku lubalama lw'ennyanja wamu n'abayigirizwa be. Abantu bangi ne bamugoberera, nga bava mu Galilaaya ne mu Buyudaaya,

[8] ne mu kibuga Yerusaalemu, ne mu kitundu ky'e Yidumeya, n'emitala w'Omugga Yorudaani, ne mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni. Bano bonna bajja gy'ali, kubanga baali bawulidde by'akola.

[9] Olw'abantu okuyitirira obungi, Yesu n'alagira abayigirizwa be bategekewo eryato limubeere kumpi, sikulwa ng'ekibiina ky'abantu kimunyigiriza.

[10] Yabalagira okukola kino kuba, nga bwe yali awonyezza abantu abangi, abalwadde bonna baali beenyigiriza, basobole okumutuukirira, bamukwateko.

[11] Abantu abaliko emyoyo emibi bwe baamulabangako, ne bagwa wansi mu maaso ge, ne baleekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!”

[12] Kyokka Yesu n'agaanira ddala emyoyo emibi okumwatuukiriza.

[13] Awo Yesu n'alaga mu kitundu eky'ensozi, n'ayita abo be yalondamu. Ne bajja w'ali,

[14] n'ayawulako kkumi na babiri, babeerenga wamu naye, era abatumenga okubunyisa obubaka bwe.

[15] N'abawa n'obuyinza okugobanga emyoyo emibi ku bantu.

[16] Ekkumi n'ababiri be yayawulako be bano: Simooni, gwe yayongerako erya Peetero;

[17] batabani ba Zebedaayo: Yakobo ne Yowanne, be yayongerako erya “Bowaneruge” (ekitegeeza nti: “Ababwatuka nga laddu”),

[18] ne Andereya, ne Filipo, ne Barutolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo mutabani wa Alufaayo, ne Taddaayo, ne Simooni Omulwanirizi w'eggwanga lye,

[19] ne Yuda Yisikaryoti, eyalyamu Yesu olukwe.

[20] Awo Yesu n'ayingira mu nnyumba. Abantu bangi ne baddamu okukuŋŋaanira w'ali. Ye n'abayigirizwa be ne babulwawo n'akaseera okulya emmere.

[21] Ababe bwe baawulira, ne bagenda okumukwata, kubanga baali bagamba nti: “Alaluse?”

[22] Abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, ne bagamba nti: “Aliko Beeluzebuli omukulu w'emyoyo emibi, era akozesa buyinza bwa Beeluzebuli oyo okugigoba ku bantu.”

[23] Awo Yesu n'ayita abantu, n'abagamba mu ngero nti: “Sitaani ayinza atya okugoba Sitaani ku bantu?

[24] Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu, ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira.

[25] Ne mu maka, abantu baamu bwe batategeeragana, baawukana, amaka ago ne gasasika.

[26] Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obuyinza bwe ne bwawukanamu, aba takyaliwo, ng'azikiridde.

[27] “Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wa maanyi n'anyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kumusiba, olwo n'alyoka anyaga eby'omu nnyumba ye.

[28] “Mazima mbagamba nti: abantu bayinza okusonyiyibwa ebibi byonna, era bayinza okusonyiyibwa okwogera obubi mu ngeri yonna.

[29] Naye buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa, wabula aba akoze ekibi ky'asigala nakyo emirembe gyonna.”

[30] Kino Yesu yakyogera okuddamu abo abaali bagambye nti aliko omwoyo omubi.

[31] Awo baganda ba Yesu ne nnyina, ne bajja gy'ali, ne bayimirira wabweru, ne bamutumira nga bamuyita.

[32] Ekibiina ky'abantu kyali kitudde nga kimwetoolodde, ne bamugamba nti: “Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.”

[33] Yesu n'abaddamu nti: “Baba bantu ba ngeri ki be mpita mmange ne baganda bange?”

[34] Awo ne yeebunguluza amaaso abantu abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano.

[35] Buli akola Katonda by'ayagala, ye aba muganda wange, ye aba mwannyinaze, ye aba mmange.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Mariko — Chapters