Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:48

[1] Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, bwe baakuŋŋaanira awali Yesu,

[2] ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga baliisa engalo ezitatukuziddwa, kwe kugamba, nga tebazinaabye ng'obulombolombo bw'Abayudaaya bwe bulagira.

[3] Abafarisaayo n'Abayudaaya abalala bonna, baakuumanga empisa ya bajjajjaabwe ey'obutalya nga tebamaze kunaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwabwe bwe bulagira.

[4] Era bye baggyanga mu katale nga tebabirya, okuggyako nga bimaze okutukuzibwa. Baalina n'obulombolombo obulala bungi bwe baakuumanga, ng'okwoza ebikopo, ebibya, n'entamu ez'ekikomo.

[5] Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe, naye ne balya ng'engalo zaabwe tezitukuziddwa?”

[6] Yesu n'abaddamu nti: “Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi eyaboogerako, bye yawandiika bituufu nti: ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa mu bigambo bugambo, naye emitima gyabwe tegindiiko.

[7] N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu, kubanga ebigambo eby'abantu obuntu, bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’

[8] “Muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukuuma obulombolombo bw'abantu.”

[9] N'abagamba nate nti: “Mukola bubi okugaana ekiragiro kya Katonda, mulyoke mukuume obulombolombo bwammwe.

[10] Musa yalagira nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’

[11] “Naye mmwe mugamba nti: ‘Singa omuntu ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye yandimuwadde okumuyamba, kifuuse Korubaani,’ ekitegeeza nti kiwongeddwa eri Katonda,

[12] olwo nga temukyamukkiriza kubaako kantu na kamu k'akolera kitaawe oba nnyina.

[13] Bwe mutyo ekyo Katonda ky'agamba ne mukidibya nga mugoberera obulombolombo bwammwe bwe muyigiriza. Era mukola n'ebirala bingi eby'engeri eyo.”

[14] Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu nate, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumpulirize mwenna, era mwetegereze.

[15] Ebyo omuntu by'alya, si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe, bye bizoonoona. [

[16] Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”]

[17] Olwo n'aleka awo ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g'ekyo ky'ayogedde.

[18] N'abagamba nti: “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temulaba nti omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze?

[19] Emmere teyingira mu mutima gwe, wabula egenda mu lubuto, mw'eva n'efuluma.” (Yesu, mu kwogera bw'atyo, yalaga nti tewali byakulya, abantu bye bateekwa okuziza).

[20] Era n'agamba nti: “Omuntu by'akola ne by'ayogera, bye byonoona empisa ze,

[21] kubanga mu mutima gw'omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu,

[22] obwenzi, okululunkanira ebintu, ebikolwa ebibi ebya buli ngeri, obukumpanya, obuluvu, obuggya, okwogera obubi ku balala, okwekulumbaza, n'obugwagwa.

[23] Ebintu bino byonna ebibi biva mu mutima, ne byonoona empisa z'omuntu.”

[24] Yesu bwe yava awo, n'alaga mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni, n'abeera mu maka agamu, n'atayagala bantu bamanye, kyokka n'atasobola kwekisa.

[25] Waaliwo omukazi eyalina kawala ke akaliko omwoyo omubi. Bwe yawulira ettutumu lya Yesu, amangwago n'agenda gy'ali, n'afukamira okumpi n'ebigere bye.

[26] Omukazi oyo teyali Muyudaaya. Yali nzaalwa y'e Fenikiya mu nsi y'e Siriya. N'asaba Yesu agobe omwoyo omubi ku kawala ke.

[27] Yesu n'amuddamu nti: “Leka abaana, be baba basooka okulya bakkute, kubanga bwe baba tebannakkuta, si kirungi okuddira emmere yaabwe, n'esuulirwa embwa.”

[28] Omukazi n'addamu Yesu nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'embwa, bwe ziba wansi w'emmeeza, zirya ku bukunkumuka obuva ku mmere y'abaana.”

[29] Yesu n'amugamba nti: “Olw'ebigambo bino by'ozzeemu, weddireyo eka, muwala wo, omwoyo omubi gumuvuddeko.”

[30] Awo n'addayo eka, n'asanga nga muwala we agalamidde ku buliri, era ng'omwoyo omubi gumuvuddeko.

[31] Awo Yesu n'ava mu kitundu eky'e Tiiro, n'alaga ku nnyanja y'e Galilaaya, ng'ayita mu bitundu eby'e Sidoni ne Dekapoli.

[32] Ne wabaawo abaamuleetera kiggala, era eyali tasobola kwogera bulungi, ne bamwegayirira amukwateko.

[33] Awo Yesu n'aggya omuntu ono mu kibiina ky'abantu, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awanda amalusu, n'amukwata ku lulimi.

[34] Ate n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba omuntu oyo nti: “Effata”, ekitegeeza nti: “Zibuka.”

[35] Awo amatu ge ne gazibuka, n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka, n'ayogera bulungi.

[36] Yesu n'akuutira abantu, kino obutakibuulirako balala. Naye gye yakomya okubakuutira, ate bo gye baakomya okukibunyisiza ddala wonna.

[37] Bonna abaakiwulira, ne bawuniikirira nnyo, nga bagamba nti: “Byonna abikola bulungi: ababadde abaggavu b'amatu, abasobozesa okuwulira; ate ababadde bakasiru, n'abasobozesa okwogera.”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Mariko — Chapters