Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 6:55

[1] Obudde bwe bwali nga bwakakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, era n'abakiise abalala bonna, ne bateesa. Ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato.

[2] Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”

[3] Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira emisango mingi.

[4] Pilaato n'amubuuza nti: “Tolina kyakuddamu? Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi.”

[5] Kyokka Yesu n'atayongera kumuddamu kigambo, Pilaato ne yeewuunya.

[6] Mu biseera eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yatanga omusibe gwe baamusabanga okuta.

[7] Ku mulundi guno, mu kkomera mwalimu omusajja ayitibwa Barabba, eyasibwa awamu ne bajeemu banne abatta abantu mu kajagalalo.

[8] Awo ekibiina ky'abantu ne kyambuka, ne kitandika okusaba Pilaato okubakolera nga bwe yali amanyidde.

[9] Pilaato n'abaddamu ng'ababuuza nti: “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?”

[10] Ekyo yakyogera, kubanga yamanya nti bakabona abakulu baali bawaddeyo Yesu lwa kumukwatirwa buggya.

[11] Kyokka bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu nti Pilaato abateere Barabba mu kifo kya Yesu.

[12] Awo Pilaato n'abagamba nti: “Kale gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya nnaamukola ntya?”

[13] Bo ne bamuddamu nga baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba!”

[14] Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.”

[15] Awo Pilaato olw'okwagala okusanyusa ekibiina ky'abantu, n'abateera Barabba, ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.

[16] Awo abaserikale ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato oluyitibwa Purayitoriyo, ne bayita bannaabwe ab'ekibinja ekyo kyonna, ne bakuŋŋaana.

[17] Ne bambaza Yesu olugoye olumyufu, ne bawetaaweta amaggwa, ne bagakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe.

[18] Awo ne batandika okumulamusa nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!”

[19] Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bafukamira nga beefuula abamussaamu ekitiibwa.

[20] Awo bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye olumyufu, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamufulumya, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.

[21] Awo Simooni Omukireene yali ayitawo ng'ava mu kyalo, abaserikale ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. Simooni ono ye kitaawe wa Alekizanda ne Ruufo.

[22] Awo Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga.

[23] Ne bamuwa omwenge gw'emizabbibu nga gutabuddwamu envumbo eyitibwa mirra. Kyokka n'agaana okugunywa.

[24] Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu, balabe buli omu lw'anaatwala,

[25] Baamukomerera ku musaalaba nga ziwera essaawa ssatu ez'enkya.

[26] Omusango ogumuvunaanibwa ne guwandiikibwa nti: “KABAKA W'ABAYUDAAYA.”

[27] Baakomerera n'abanyazi babiri buli omu ku musaalaba ogugwe, okumpi ne Yesu, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. [

[28] Ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti: “Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka.”]

[29] Abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ha! Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu,

[30] weewonye! Va ku musaalaba okke!”

[31] Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, nabo ne bamukudaalira nga bagambagana nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya yennyini!

[32] Kristo, Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulabe, tulyoke tumukkirize!” N'abo abaakomererwa buli omu ku musaalaba okumpi ne Yesu, ne bamuvuma.

[33] Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna.

[34] Ku ssaawa ey'omwenda Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”

[35] Abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya!”

[36] Awo omu n'adduka n'annyika ekyangwe mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa, nga bw'agamba nti: “Leka tulabe oba nga Eliya anajja n'amuggya ku musaalaba!”

[37] Yesu n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.

[38] Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.

[39] Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo ng'atunuulidde Yesu, bwe yalaba engeri gy'afuddemu, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda!”

[40] Era waaliwo abakazi abaali ewalako nga balengera. Abamu ku bo be bano: Mariya Magudaleena, Salome, ne Mariya nnyina Yose ne Yakobo omuto.

[41] Abakazi bano baayitanga ne Yesu nga bamuweereza, bwe yali mu Galilaaya. Era waaliwo abakazi abalala bangi abajja naye ng'ayambuka e Yerusaalemu.

[42] Obudde bwe bwali buwungeera, ate nga lwali lunaku lwa kweteekateeka, kwe kugamba, olukulembera Sabbaato,

[43] Yosefu ow'e Arimataya n'ajja. Yali mubaka mu lukiiko olukulu olw'Abayudaaya, assibwamu ekitiibwa. Era naye yali alindirira okujja kw'Obwakabaka bwa Katonda. Yosefu oyo n'aguma, n'agenda ewa Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu.

[44] Pilaato ne yeewuunya okuwulira nti Yesu yafudde dda. N'ayita omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, n'amubuuza oba nga Yesu yafudde dda.

[45] Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yamala okukakasa Pilaato nti Yesu amaze okufa, Pilaato n'akkiriza Yosefu okutwala omulambo.

[46] Awo Yosefu n'agula olugoye olweru olulungi, n'awanula omulambo gwa Yesu ku musaalaba, n'aguzinga mu lugoye olwo, n'aguteeka mu ntaana ey'empuku, era eyali esimiddwa mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja, n'aliggaza omulyango gw'entaana.

[47] Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yose, ne beetegereza omulambo gwa Yesu we guteekeddwa.

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Mariko — Chapters