Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 5:22

[1] Awo Yesu bwe yali ng'ava mu Ssinzizo, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Muyigiriza, laba amayinja n'ebizimbe ebyewuunyisa!”

[2] Yesu n'amuddamu nti: “Ebizimbe bino ebinene obiraba? Mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna galisuulibwa wansi.”

[3] Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, ng'atunuulidde Essinzizo, Peetero ne Yakobo ne Yowanne ne Andereya, ne bamubuuza mu kyama nti:

[4] “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti ebyo byonna binaatera okubaawo?”

[5] Awo Yesu n'abagamba nti: “Mwerinde waleme kubaawo ababuzaabuza.

[6] Bangi balijja nga beeyita nze, era balibuzaabuza bangi.

[7] Era bwe muwuliranga entalo wano ne wali, temutyanga. Zino ziteekwa okugwawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.

[8] “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo okukankana kw'ensi mu bitundu bingi, era enjala erigwa. Olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.

[9] “Naye mwekuume, kubanga balibakwata ne babawaayo mu mbuga z'amateeka. Balibakubira mu makuŋŋaaniro. Era muliyimirira mu maaso g'abaami n'aga bakabaka ku lwange, okubatuusaako obubaka bwange.

[10] Enkomerero nga tennatuuka, Amawulire Amalungi gateekwa okumala okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna.

[11] “Era bwe babakwatanga ne babawaayo mu mbuga z'amateeka, temweraliikiriranga kye munaayogera, naye mwogeranga ekyo Katonda ky'abawa okwogera mu kaseera ako. Ebigambo bye mulyogera tebiriba byammwe, wabula bya Mwoyo Mutuukirivu.

[12] “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe, ne babawaayo okuttibwa.

[13] Era nammwe abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange. Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.

[14] “Bwe muliraba ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa nga kiteekeddwa we kitandibadde (oyo asoma bino ategeere), olwo abo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi.

[15] Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.

[16] Era aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye.

[17] Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo nga balibonaabona nnyo!

[18] Mwegayirire Katonda, bino bireme kubaawo mu biseera eby'obutiti.

[19] “Mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ebintu, okutuusa kati. Era tewaliddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.

[20] Era singa Katonda teyakendeeza ku nnaku ezo, ez'okubonaabona, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu be, ennaku ezo yazikendeezaako.

[21] “Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano,’ oba nti: ‘Ali wali,’ temukkirizanga.

[22] Abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka.

[23] Naye mwerinde, mbabuulidde byonna nga bukyali.

[24] “Mu nnaku ezo, ng'ekiseera eky'okubonaabona kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka.

[25] Emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.

[26] “Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa.

[27] Alituma bamalayika mu njuuyi zonna ennya ez'ensi, okukuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.

[28] “Mulabire ku muti omutiini muyige. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.

[29] Mu ngeri ye emu, bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo.

[30] “Mazima mbagamba nti ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo.

[31] Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.

[32] “Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde Mwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.

[33] Mwerinde, mutunule, kubanga temumanyi kiseera kirindirirwa we kirituukira.

[34] “Kino kifaananako n'ekyo omuntu ky'akola ng'agenda okutambula olugendo. Bw'aba ava awaka, aleka akwasizza buli muddu we omulimu gw'anaakola, n'omuggazi n'amulagira okukuuma.

[35] Kale mutunule, kubanga temumanyi nnannyini maka w'alijjira, oba mu ttumbi, oba enkoko we zikookolimira, oba mu makya,

[36] aleme kubagwako bugwi, n'abasanga nga mwebase.

[37] Kye ŋŋamba mmwe, era kye ŋŋamba n'abalala bonna nti: Mutunule!”

Amawulire Amalungi Aga Yesu Kristo Nga Bwe Gaawandiikibwa Mariko — Chapters