[1] Awo Yesu n'abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Ekibuga Yerusaalemu, kwe kugamba, nga batuuse e Betufaage ne Betaniya, okumpi n'Olusozi olw'Emiti Emizayiti, Yesu n'atuma babiri ku bayigirizwa be nti:
[2] “Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugisumulule mugireete.
[3] Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki endogoyi mugisumulula?’ Muddamu nti: ‘Mukama waffe agyetaaga, era ajja kulagira bagizze mangu wano.’ ”
[4] Awo ne bagenda, ne basanga endogoyi entoototo esibiddwa ku mulyango, ng'eyimiridde wabweru mu luguudo, ne bagisumulula.
[5] Abamu ku baali bayimiridde awo, ne bababuuza nti: “Mukola ki? Lwaki endogoyi mugisumulula?”
[6] Abayigirizwa ne babaddamu nga Yesu bwe yali agambye. Bali ne babaleka bagende.
[7] Awo abayigirizwa ne batwalira Yesu endogoyi, ne bagissaako ekkooti zaabwe, Yesu n'agyebagala.
[8] Bangi ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne baaliiramu obutabi bw'emiti obuliko amakoola, bwe baatema mu nnimiro.
[9] Awo abaali bakulembedde, n'abaali bava emabega, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mukama atenderezebwe.” Ajja mu linnya lya Mukama, aweereddwa omukisa.
[10] Obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi obujja okuzzibwawo buweereddwa omukisa. Mukama, ali mu ggulu, atenderezebwe.
[11] Awo Yesu n'atuuka mu Yerusaalemu, n'ayingira mu Ssinzizo. Bwe yamala okwebunguluza amaaso okulaba ebintu byonna, n'afuluma, n'alaga e Betaniya wamu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, kubanga obudde bwali bunaatera okuwungeera.
[12] Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bava e Betaniya, Yesu n'alumwa enjala.
[13] Bwe yalengera omuti omutiini oguliko amakoola, n'agenda okulaba oba nga anaagusangako ebibala. Bwe yagutuukako, n'atasangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka, kubanga si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira.
[14] N'agugamba nti: “Okuva kati tewabanga alya ku bibala byo nate!” Ebigambo bino abayigirizwa be ne babiwulira.
[15] Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baatuuka e Yerusaalemu, Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'atandika okugobamu abo abaali batundiramu n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batunda enjiibwa.
[16] Era n'aziyiza buli muntu okuyisa ebintu mu Ssinzizo.
[17] Awo n'ayigiriza abaaliwo nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba abantu b'amawanga gonna mwe banansinzizanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi!”
[18] Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basala amagezi ag'okuzikiriza Yesu. Baali bamutidde, kubanga ekibiina ky'abantu kyonna kyali kiwuniikiridde olw'enjigiriza ye.
[19] Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ne bava mu kibuga.
[20] Enkeera ku makya, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bayitawo, ne balaba omuti omutiini guli nga gukaze okuviira ddala ku kikolo.
[21] Awo Peetero n'ajjukira, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, laba, omuti omutiini gwe wakolimidde gukaze!”
[22] Yesu n'abaddamu nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda.
[23] Mazima mbagamba nti singa omuntu agamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja, kino kirimukolerwa, kasita tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula n'akkiriza nti ky'agamba kinaatuukirira.’
[24] N'olwekyo mbagamba nti: buli kye musaba Katonda, mukkirize nti mukifunye, era mulikifuna.
[25] “Era buli lwe muyimusa emitima gyammwe eri Katonda, singa wabaawo aba akoze ekibalumya mmwe, mumusonyiwe, olwo Kitammwe ali mu ggulu alyoke nammwe abasonyiwe ebibi byammwe. [
[26] Naye singa temusonyiwa, olwo ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa bibi byammwe.”]
[27] Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bakomawo nate e Yerusaalemu. Yesu bwe yali atambula mu Ssinzizo, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagenda gy'ali.
[28] Ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza buno okubikola”?
[29] Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Singa munziramu, olwo nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola ebintu bino.
[30] Ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda, oba bantu? Munziremu.”
[31] Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Tuddemu nti: Katonda ye yamutuma? Anaatubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?’
[32] Oba tuddemu nti: abantu be baamutuma?” Kino ne bakitya: kubanga abantu bonna baali bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala.
[33] Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Kale nno nange siibabuulire buyinza bwe nnina okukola ebintu bino.”