[1] Awo Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba ng'Obwakabaka bwa Katonda buzze na maanyi.”
[2] Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, ne Yakobo, ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba.
[3] Ebyambalo bye ne bimasamasa, ne bitukula nnyo nga tewali mwozi n'omu ku nsi eyandisobodde okubitukuza okwenkana awo.
[4] Olwo ne balaba Eliya ne Musa nga boogera ne Yesu.
[5] Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”
[6] Peetero yagamba bw'atyo, ng'ebyokwogera bimubuze, kubanga ye ne banne, baali batidde nnyo.
[7] Awo ekire ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, era eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirize.”
[8] Ate amangwago bwe beebunguluza amaaso, ne batalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yesu yekka.
[9] Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”
[10] Era nabo ne bagondera ky'abagambye, wabula ne beebuuzaganya nti: “Ategeezezza ki bw'ayogedde ku kuzuukira?”
[11] Awo ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya ye ateekwa okusooka okujja?”
[12] Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya ye ateekwa okusooka okujja atereeze byonna. Wabula, lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w'Omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era n'okunyoomebwa?
[13] Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, era abantu baamukolako byonna bye baayagala, ng'ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.”
[14] Awo Yesu n'abayigirizwa be abasatu, bwe baava ku lusozi, ne basanga ekibiina ky'abantu kinene, nga kyetoolodde abayigirizwa be abalala, era ng'abannyonnyozi b'amateeka bawakana nabo.
[15] Abantu bonna bwe baalaba Yesu, amangwago ne bajjula essanyu, ne badduka okugenda gy'ali, ne bamwaniriza.
[16] Awo ye n'abuuza abayigirizwa be nti: “Kiki kye muwakana nabo?”
[17] Omu ku bantu abangi abaaliwo, n'amuddamu nti: “Muyigiriza, nakuleetedde mutabani wange, aliko omwoyo omubi ogumugaana okwogera.
[18] Buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, era n'alambaala. Nasabye abayigirizwa bo okugumugobako ne balemwa.”
[19] Yesu n'abaddamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere.”
[20] Awo ne bamumuleetera. Omwoyo omubi bwe gwalaba Yesu, amangwago ne gujugumiza omulenzi, n'agwa wansi, ne yeevulungula, nga bw'abimba ejjovu.
[21] Yesu n'abuuza kitaawe w'omulenzi nti: “Amaze bbanga ki ng'akwatiddwa omwoyo guno omubi?” Ye n'addamu nti: “Okuviira ddala mu buto.
[22] Era emirundi mingi gumusuula mu muliro, oba mu mazzi, gumutte. Naye tukwatirwe ekisa, otuyambe, singa osobola.”
[23] Yesu n'amuddamu nti: “Ogambye nti: ‘Singa osobola?’ Manya nti byonna bisoboka, omuntu bw'aba n'okukkiriza.”
[24] Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!”
[25] Yesu bwe yalaba abantu abalala bangi nga nabo bajja badduka, n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omubi ogutayogera, era ogwaziba amatu, nkulagira nti omulenzi muveeko, era tomuddangako nate.”
[26] Awo bwe gwamala okuleekaana n'okujugumiza ennyo omulenzi, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Era abasinga obungi ne bagamba nti: “Afudde!”
[27] Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa, era omulenzi n'ayimirira.
[28] Oluvannyuma, Yesu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?”
[29] Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.”
[30] Yesu n'abayigirizwa be bwe baava awo, ne bayita mu Galilaaya, Yesu n'atayagala bantu balala bamanye,
[31] kubanga yali n'abayigirizwa be ng'abayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta, wabula nga bamaze okumutta, waliyitawo ennaku ssatu n'azuukira.”
[32] Kyokka kye yabagamba tebaakitegeera, ate ne batya okumubuuza.
[33] Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe baamala okuyingira mu nnyumba, Yesu n'ababuuza nti: “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
[34] Naye bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.
[35] Awo Yesu n'atuula n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba asembayo mu bonna, era ateekwa okuba omuweereza wa bonna.”
[36] Awo n'ayita omwana omuto, n'amugamba okuyimirira we bayinza okumulabira. Namulera, olwo n'abagamba nti:
[37] “Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba tayanirizza nze, wabula aba ayanirizza oyo eyantuma.”
[38] Awo Yowanne n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tugezaako okumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
[39] Yesu n'addamu nti: “Temumuziyiza, kubanga buli akola ebyamagero ng'akozesa erinnya lyange, tasobola, nga waakayitawo akaseera katono, okunjogerako obubi.
[40] Buli atatulwanyisa, taba mulabe waffe.
[41] Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.
[42] “Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandimusingidde obulungi kwe kumusiba ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja.
[43] Era singa omukono gwo gukukozesa ekibi, gutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli wa mukono gumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
[44] omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.”]
[45] Oba singa okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli mulema, okusinga lw'osigaza amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [
[46] omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.]
[47] “Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira,
[48] omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.
[49] “Buli muntu alikumwamu omuliro, ng'emmere bw'erungwamu omunnyo.
[50] Omunnyo gwa mugaso, naye singa gusaabulukuka, muyinza mutya okuguzzaamu obuka bwagwo? Mube n'omunnyo mu mpisa zammwe, era mutabagane.”