[1] Awo mu nnaku ezo, abantu ne bakuŋŋaana bangi nate. Bwe baali nga tebakyalina mmere, Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti:
[2] “Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya.
[3] Bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe ng'enjala ebaluma, bajja kuzirikira mu kkubo, kubanga abamu baava wala.”
[4] Abayigirizwa be ne baddamu nti: “Mu ddungu omuntu aggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?”
[5] Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka!” Ne baddamu nti: “Musanvu.”
[6] Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n'agimenyaamenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu. Ne bagibagabira.
[7] Baalinawo n'obwennyanja mpa we buzira. Bwe yamala okwebaza Katonda, nabwo n'alagira babubagabire.
[8] Abantu ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa be ne bakuŋŋaanya ebitundutundu ebyalemerawo, ne bijjuza ebibbo musanvu.
[9] Abantu baali bawera ng'enkumi nnya.
[10] Awo Yesu n'abasiibula. Amangwago n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'alaga mu kitundu eky'e Dalumanuta.
[11] Abafarisaayo ne bagenda eri Yesu, ne batandika okuwakana naye, ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.
[12] Awo n'assa ekikkowe, olw'okulumwa mu mwoyo gwe, n'agamba nti: “Abantu b'omulembe guno lwaki basaba akabonero? Mazima mbagamba nti ab'omulembe guno tewali kabonero kanaabaweebwa.”
[13] N'abavaako, n'asaabala mu lyato nate, n'alaga ku ludda olulala olw'ennyanja.
[14] Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati. Wabula mu lyato baalinamu omugaati gumu.
[15] Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafarisaayo, n'ekizimbulukusa ekya Herode.”
[16] Bo ne bagambagana nti: “Tetulina migaati!”
[17] Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? N'okutuusa kati temunnaba kwetegereza na kutegeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu?
[18] Mulina amaaso, naye temulaba? N'amatu ge mulina tegawulira? Era temujjukira?
[19] Bwe nagabira abantu enkumi ettaano emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Kkumi na bibiri.”
[20] “Ate bwe nagabira abantu enkumi ennya emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Ebibbo musanvu.”
[21] Awo n'ababuuza nti: “N'okutuusa kati temunnaba kutegeera?”
[22] Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka e Betusayida. Abantu abamu ne baleeta muzibe awali Yesu, ne bamwegayirira amukwateko.
[23] Yesu n'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kabuga ako. Bwe yamala okufujja amalusu ku maaso ga muzibe, n'okugakwatako, n'amubuuza nti: “Oliko ky'olaba?”
[24] Muzibe n'alabamu katono, n'agamba nti: “Ndaba abantu abatambula, wabula bandabikira ng'emiti.”
[25] Yesu n'ayongera okumukwata ku maaso, ne gazibukira ddala, n'alaba bulungi buli kintu.
[26] Yesu n'agamba eyali muzibe nti: “Genda ewammwe, n'eri mu kabuga toddayo.”
[27] Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'omu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo. Bwe baali nga batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba banjogerako, bampita ani?”
[28] Ne bamutegeeza nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza. Abalala bagamba nti ggwe Eliya, ate abalala nti oli omu ku balanzi.”
[29] Awo n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo.”
[30] Yesu n'abakuutira, kino baleme kukibuulirako muntu mulala.
[31] Awo Yesu n'atandika okubayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka. Era alittibwa, naye nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
[32] Bino yabyogera mu lwatu. Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya.
[33] Kyokka Yesu bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba abayigirizwa be abalala, n'akangukira Peetero nti: “Nva mu maaso, oli Sitaani! Ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
[34] Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.
[35] Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, alibulokola.
[36] “Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe?
[37] Tewali kintu na kimu, muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe.
[38] Buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu bantu b'omulembe guno abava ku Katonda era ababi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika abatuukirivu.”