[1] Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasa.
[2] Yesu bwe yali yaakava mu lyato, omuntu aliko omwoyo omubi n'ava mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, n'amusisinkana.
[3] Omuntu oyo yasulanga mu mpuku ezo. Waali tewakyali muntu asobola kumukuuma nga musibe na kintu kyonna, wadde olujegere.
[4] Emirundi mingi yasibibwanga n'enjegere emikono n'amagulu, kyokka zonna n'azikutulakutula. Era tewaali muntu wa maanyi n'omu ayinza kumusobola.
[5] Bulijjo emisana n'ekiro, yasinziiranga mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, ne ku nsozi, n'awowoggana, era nga yeesala n'amayinja.
[6] Awo bwe yalengera Yesu, n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amussaamu ekitiibwa ng'amufukaamirira.
[7] Era n'awowoggana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde ku lw'ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.”
[8] Yagamba bw'atyo, kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo.
[9] Awo Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Erinnya lyange nze Ggye, kubanga tuli bangi.”
[10] Ne gumwegayirira nnyo nti: “Totugoba mu kitundu kya nsi kino!”
[11] Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi nga zirya.
[12] Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu nti: “Tusindike mu mbizzi, ze tuba tuyingiramu.”
[13] N'agikkiriza, ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana eryali liweramu embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
[14] Awo abaali bazirabirira ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo.
[15] Ne batuuka awali Yesu, ne balaba omuntu eyabeerangako eggye ly'emyoyo emibi. Baamusanga atudde, ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya.
[16] Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu ono, era nga giyingira mu mbizzi, ne banyumiza abantu abazze.
[17] Olwo abantu ne beegayirira Yesu ave mu kitundu kyabwe.
[18] Bwe yali ng'asaabala mu lyato, omuntu eyagobwako emyoyo emibi n'amwegayirira amukkirize ayitenga naye.
[19] Kyokka Yesu n'agaana, era n'amugamba nti: “Ddayo ewammwe mu bantu bo, obabuulire byonna Mukama by'akukoledde, era nga bw'akukwatiddwa ekisa.”
[20] Awo omuntu oyo n'agenda n'atandika okubuulira ab'omu kitundu ky'e Dekapoli, byonna ebyamukolerwa Yesu. Bonna abaabiwulira ne beewuunya.
[21] Yesu bwe yasaabala mu lyato, n'alaga emitala w'ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abeera nabo ku lubalama.
[22] Awo omu ku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, ayitibwa Yayiro, n'ajja. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira kumpi n'ebigere bye,
[23] n'amwegayirira nnyo nti: “Kawala kange kali kumpi okufa. Jjangu ssebo, okakwateko, okawonye, kaleme kufa.”
[24] Awo Yesu n'agenda naye. Abantu bangi nnyo ne bamugoberera, nga bagenda bamunyigiriza.
[25] Waaliwo omukazi eyali abonyeebonye n'obulwadde obw'ekikulukuto ky'omusaayi, okumala emyaka kkumi n'ebiri.
[26] Yali awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo bangi abaamujjanjaba, kyokka n'atawona, wabula ng'endwadde ye yeeyongera bweyongezi okuba embi.
[27] Bwe yawulira bye boogera ku Yesu, n'ajja gy'ali ng'ayita mu kibiina ky'abantu abaali bagoberera Yesu,
[28] nga bw'agamba mu mutima gwe nti: “Waakiri ne bwe nnaakwata obukwasi ku kyambalo kye, nnaawona.”
[29] Bwe yakikwatako, amangwago ekikulukuto ky'omusaayi ne kikalira. N'awulira mu mubiri gwe ng'awonye obulwadde bwe.
[30] Mu kaseera ako kennyini, Yesu n'awulira ng'obuyinza bwe obuwonya bukoze. N'akyukira ekibiina ky'abantu, n'abuuza nti: “Ani ankutte ku kyambalo?”
[31] Abayigirizwa be ne bamuddamu nti: “Naawe olaba abantu bakunyigiriza, ate n'obuuza nti ani ankutteko?”
[32] Awo Yesu ne yeebunguluza amaaso alabe amukutteko.
[33] Ye omukazi eyamanya ekimukoleddwa, n'ajja ng'atidde, era nga bw'akankana, n'afukamira mu maaso ga Yesu, n'amutegeeza amazima.
[34] Yesu n'amugamba nti: “Omuwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe, obulwadde bwo buwonere ddala.”
[35] Yesu yali akyayogera, ababaka abaava mu maka ga Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bajja. Ne bategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde, ate Omuyigiriza okyamuteganyiza ki?”
[36] Yesu bwe yawulira bano bye boogera, n'agamba Yayiro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza.”
[37] Awo Yesu n'agaana abantu abalala okugenda naye, okuggyako Peetero n'abooluganda Yakobo ne Yowanne.
[38] Bwe baatuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, Yesu n'asangawo okwaziirana, ng'abantu bakaaba, era nga bakuba ebiwoobe.
[39] Bwe yayingira, n'abagamba nti: “Lwaki mwaziirana, lwaki mukaaba? Omwana tafudde, wabula yeebase.”
[40] Ne bamusekerera. Bwe yamala okugobawo abalala bonna, n'atwala abazadde b'omwana, n'abayigirizwa be abasatu, n'ayingira nabo mu kisenge omwana mw'ali.
[41] N'akwata omwana ku mukono, n'amugamba nti: “Talita kumi,” ekitegeeza nti: “Kawala ggwe, nkugamba, golokoka.”
[42] Amangwago, akawala akaali ak'emyaka ekkumi n'ebiri, ne kayimirira, ne katambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo!
[43] Yesu n'abakuutira nnyo, kino obutakibuulirako balala. Era n'abalagira okuwa omwana emmere alye.