[1] Siri wa ddembe? Siri mutume? Saalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by'omulimu gwe nkolera Mukama?
[2] Oba nga siri mutume eri abalala, naye eri mmwe ndi mutume, kubanga mmwe kabonero akakakasa nti Mukama yantuma.
[3] Bino bye nnyanukula abo abanvunaana.
[4] Tetulina buyinza ku byakulya na byakunywa byaffe?
[5] Tetulina buyinza okutambulanga n'omukazi owooluganda, ng'abatume abalala, ne Keefa, ne baganda ba Mukama bwe bakola?
[6] Oba nze nzekka ne Barunaba, ffe tusaana okwekolera?
[7] Muserikale ki eyali yeesasulidde ebimukolako ng'ali ku lutabaalo? Ani asimba ennimiro y'emizabbibu n'atalya ku bibala byamu? Oba ani alunda ente n'atanywa ku mata gaazo?
[8] Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka nalyo si bwe ligamba?
[9] Kubanga kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa nti: “Ente togisibanga mumwa ng'ewuula eŋŋaano.” Olowooza nti Katonda ente z'alumirwa?
[10] Oba kino akyogera ku lwaffe abantu? Ekyo kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga oyo alima era n'oyo akungula, basaanira okukola omulimu gwabwe nga basuubira okufuna ku bibala.
[11] Ffe abaabasigamu ebirungi eby'omwoyo, kiba kinene nnyo bwe tukungula ku byammwe ebigasa omubiri?
[12] Oba nga abalala balina obuyinza okubifunako, obuyinza obwo si ffe tusinga okuba nabwo? Naye obuyinza obwo tetubukozesezza, wabula tugumiikiriza byonna, tuleme kuziyiza Mawulire Amalungi aga Kristo.
[13] Temumanyi nti abo abaweereza mu Ssinzizo balya ku bya mu Ssinzizo, era nga n'abo abaweereza ku alutaari bagabana ku biweebwayo mu kifo ekyo?
[14] Era bw'atyo ne Mukama yalagira nti abo abategeeza abantu Amawulire Amalungi basaana okuliisibwa olw'omulimu ogwo.
[15] Naye nze ebyo sibisabye, era bwe mpandiika kino, sigamba nti binkolerwe, kubanga waakiri nfe okusinga omuntu lw'anzigyako ekyo ekinneenyumiririzisa.
[16] Bwe ntegeeza abantu Amawulire Amalungi, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga nteekwa buteekwa okukikola, era ziba zinsanze bwe sitegeeza bantu Amawulire Amalungi.
[17] Singa ekyo nkikola lwa kweyagalira, nandibadde nsaanira okuweebwa empeera. Naye nga bwe sikikola lwa kweyagalira, nkikola lwa kuba nga Katonda yankwasa omulimu ogwo.
[18] Kale empeera yange y'eruwa? Empeera yange kwe kutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga sisasulwa era nga sirina na kimu kye nsaba olw'omulimu ogwo.
[19] Newaakubadde nga siri muddu wa muntu n'omu, nafuuka muddu wa bonna, ndyoke ndeete bangi eri Kristo.
[20] Mu Bayudaaya nafuuka ng'Omuyudaaya, ndyoke ndeete Abayudaaya. Mu abo abafugibwa amateeka g'Ekiyudaaya, nafuuka nga bo ndyoke mbaleete.
[21] Mu b'amawanga amalala abatalina mateeka ga Kiyudaaya, nafuuka ng'atagalina, ndyoke ndeete abo abatalina mateeka ago. Kino tekitegeeza nti sikwata mateeka ga Katonda, kubanga nfugibwa amateeka ga Kristo.
[22] Mu banafu mu kukkiriza nafuuka ng'omunafu, ndyoke mbaleete. Nafuuka byonna eri bonna, ndyoke mbeeko abamu ku bo be ndokola.
[23] Ebyo byonna mbikola olw'Amawulire Amalungi, ndyoke ngabane ku birungi ebiva mu go.
[24] Temumanyi nti mu mbiro ez'empaka abadduka baba bangi, naye aweebwa ekirabo abeera omu? Kale muddukenga bwe mutyo, mulyoke muweebwe ekirabo.
[25] Buli eyeetaba mu mizannyo egy'empaka yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo, balyoke baweebwe engule eyonooneka, naye ffe tuliweebwa engule eteyonooneka.
[26] N'olwekyo sidduka ng'atalina kye ŋŋenderera. Nnwana naye siri ng'oyo akuba ebbanga.
[27] Mbonereza omubiri gwange era ngufuga, si kulwa nga mmala okutegeeza abalala Amawulire Amalungi, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.