Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 1:56

[1] Ne bwe njogera ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye ne siba na kwagala, mba ng'ekide ekimala gavuga, oba ng'ebirebe ebikubagana.

[2] Ne bwe mba n'ekirabo eky'obulanzi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye ne siba na kwagala, mba siriiko kye ngasa.

[3] Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuliisa abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne gwokebwa, naye nga sirina kwagala, sibaako kye ngasiddwa.

[4] Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa. Okwagala tekuba na buggya. Okwagala tekwenyumiikiriza era okwagala tekwekulumbaza.

[5] Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo byokka, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.

[6] Okwagala tekusanyukira butali bwenkanya, wabula kusanyukira mazima.

[7] Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, era kugumiikiriza byonna.

[8] Ne bwe wabaawo obulanzi, bulivaawo. Ne bwe wabaawo ekirabo eky'okwogera ennimi, kirikoma. Ne bwe wabaawo amagezi, galiggwaawo. Naye okwagala tekuggwaawo.

[9] Okumanya kwaffe kwa kitundu, n'obulanzi bwaffe nabwo bwa kitundu.

[10] Naye ebituukiridde bwe birijja, eby'ekitundu biriggwaawo.

[11] Bwe nali nkyali muto, nayogeranga ng'omuto. Naye bwe nakula, ne ndeka eby'obuto.

[12] Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng'abeerabira mu ndabirwamu eteraba bulungi. Naye luli tulirabira ddala bulungi. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu. Naye luli ndimanyira ddala byonna, nga kaakano Katonda bw'ammanyidde ddala.

[13] Naye kaakano ebiriwo biri bisatu: okukkiriza, okusuubira, era n'okwagala. Naye ekisinga obukulu, kwe kwagala.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters