[1] Abooluganda, njagala mutegeere ebifa ku birabo ebigasa omwoyo.
[2] Mumanyi nti bwe mwali mukyali bantu ab'ensi, mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebyo ebitali Katonda, era ebitayogera.
[3] Kyenva njagala mutegeere nti tewali muntu n'omu, Mwoyo wa Katonda gw'ayogeza, n'agamba nti: “Yesu avumirirwe!” Era tewali n'omu agamba nti: “Yesu ye Mukama,” wabula nga Mwoyo Mutuukirivu ye akimwogezezza.
[4] Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba ye omu.
[5] Waliwo engeri nnyingi ez'okuweerezaamu, naye Mukama aweerezebwa ye omu.
[6] Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, kyokka Katonda ye omu asobozesa bonna mu buli kye bakola.
[7] Mwoyo alabikira mu buli omu olw'okugasa bonna.
[8] Omu, Mwoyo amuwa okwogera eby'amagezi, omulala, Mwoyo ye omu n'amuwa okutegeera.
[9] Omulala, Mwoyo ye omu amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa obuyinza obw'okuwonya abalwadde.
[10] Omu, Mwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n'omulala n'amuwa okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda; ate omulala n'amuwa okumanya emyoyo emirungi n'emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi, n'omulala n'amuwa okuzivvuunula.
[11] Naye Mwoyo akola ebyo byonna ye omu, ye agabira bonna nga bw'ayagala.
[12] Kristo afaanaanyirizibwa n'omubiri. Newaakubadde nga gulina ebitundu bingi, naye gusigala nga guli gumu.
[13] Bwe tutyo naffe ffenna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, abaddu n'ab'eddembe, twabatizibwa Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, era ffenna twafuna Mwoyo omu.
[14] Omubiri teguba na kitundu kimu, naye guba n'ebitundu bingi.
[15] Singa ekigere kigamba nti: “Siri mukono, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikiggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
[16] Era singa okutu kugamba nti: “Siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikuggyaako kubeera kitundu kya mubiri.
[17] Singa omubiri gwonna gwali liiso, okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, okuwunyiriza kwandibadde wa?
[18] Naye kaakano Katonda yateeka mu mubiri ebitundu ebyenjawulo, nga bwe yayagala.
[19] Singa byonna byali ekitundu kimu, olwo omubiri gwandibadde wa?
[20] Naye kaakano ebitundu bingi, naye omubiri guli gumu.
[21] Eriiso teriyinza kugamba mukono nti: “Ggwe sikwetaaga,” wadde omutwe okugamba ebigere nti: “Mmwe sibeetaaga.”
[22] Naye mu mazima, ebitundu by'omubiri ebirabika ng'ebisinga obunafu, bye bisinga okwetaagibwa.
[23] Era ebitundu ebyo eby'omubiri bye tulowooza okuba ebinyoomebwa, bye tusinga okwambaza ekitiibwa, n'ebyo ebitalabika bulungi, bye tusinga okuwa ekitiibwa ekingi,
[24] ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bw'atyo Katonda bwe yatereeza omubiri, ebitundu ebinyoomebwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obunene,
[25] omubiri guleme kwesalaasalamu, wabula ebitundu byagwo bikolaganirenga wamu.
[26] Ekitundu ekimu bwe kirumwa, n'ebirala byonna birumirwa wamu nakyo. Era ekitundu ekimu bwe kiweebwa ekitiibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
[27] Kale mwenna muli mubiri gwa Kristo, era buli omu mu mmwe kitundu kyagwo.
[28] Era mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, Katonda yateekamu abantu: abasooka be batume, abaddako be balanzi, ne kuddako abayigiriza, ne kuddako abakozi b'ebyamagero, abawonya abalwadde, abayambi b'abantu, abafuzi, era n'aboogera ennimi.
[29] Bonna batume? Bonna balanzi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero?
[30] Bonna balina ebirabo eby'okuwonya abalwadde? Bonna boogera ennimi? Bonna bavvuunula ennimi?
[31] Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era ka mbalage ekkubo erisingira ddala obulungi.