Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:01

[1] Omu mu mmwe bw'abaako ky'avunaana munne, lwaki aguma okutwala ensonga ze mu balamuzi abatalina kukkiriza, n'atazitwala mu bantu ba Katonda?

[2] Temumanyi nti abantu ba Katonda be balisalira ensi omusango? Oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, kale temusobola kusala musango mu busonga obwo obutono?

[3] Temumanyi nti ffe tulisalira bamalayika omusango? Kale tuyinza tutya okulemwa okusala emisango egy'omu bulamu buno?

[4] Kale bwe muba n'emisango egy'engeri eyo, lwaki mugitwala eri abo ab'ebweru, abanyoomebwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo?

[5] Kino nkyogedde kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuulamu muntu mugezi asobola okusala omusango gw'abooluganda?

[6] Ddala owooluganda awawaabire muganda we eri abo abatalina kukkiriza?

[7] Naye n'okuwozaŋŋanya mwekka na mwekka, kiraga nti muli mu kabi. Lwaki temugumiikiriza nga mukoleddwa akabi? Lwaki temugumira bya kulyazaamanyizibwa?

[8] Naye mmwe mwennyini mukola bubi, era mulyazaamaanya. Kino mukikola ne ku baganda bammwe.

[9] Temumanyi nti abatali batuukirivu tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: abo abakola eby'obukaba, abasinza ebitali Katonda, abenzi, abalya ebisiyaga,

[10] ababbi, ab'omululu, abatamiivu, abawaayiriza, n'abanyazi, tebalifuna mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.

[11] Era abamu ku mmwe mwali ng'abo. Naye olw'erinnya lya Mukama Yesu Kristo n'olwa Mwoyo wa Katonda, mwanaazibwa era mwatukuzibwa, ne muweebwa obutuukirivu.

[12] Omu ayinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Weewaawo, naye si byonna ebigasa. Nange nnyinza okugamba nti: “Byonna nzikirizibwa okubikola.” Naye nga byo si bye binfuga.

[13] N'omulala ayinza okugamba nti: “Ebyokulya byatonderwa lubuto, n'olubuto lwatonderwa byakulya.” Weewaawo, naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri teguliiwo lwa bwenzi, wabula guliwo lwa Mukama, ne Mukama lwa mubiri.

[14] Katonda yazuukiza Mukama, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.

[15] Temumanyi nti emibiri gyammwe bitundu bya mubiri gwa Kristo? Kale nnyinza okuddira ebitundu by'omubiri gwa Kristo ne mbifuula ebitundu by'omwenzi? Ekyo siyinza kukikola.

[16] Temumanyi nti eyeegatta n'omwenzi, bombi baba omubiri gumu? Kubanga kyawandiikibwa nti: “Bombi baliba omubiri gumu.”

[17] Kyokka oyo eyeegatta ne Mukama, bombi baba omu mu mwoyo.

[18] Mwewalenga obwenzi. Buli kibi omuntu ky'akola, kiba bweru wa mubiri gwe. Kyokka oyo ayenda, akola ekibi ku mubiri gwe gwennyini.

[19] Temumanyi nti emibiri gyammwe lye ssinzizo lya Mwoyo Mutuukirivu abeera mu mmwe, Katonda gwe yabawa? Era temumanyi nti temuliiwo ku lwammwe?

[20] Mwagulwa n'omuwendo munene. N'olwekyo emibiri gyammwe mugikozesenga ebyo ebiweesa Katonda ekitiibwa.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters