Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:56

[1] Kale ebyo ebikwata ku kukuŋŋaanya eby'okuyamba abantu ba Katonda, nammwe mukole nga bwe nalagira ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Galatiya.

[2] Ku buli lunaku olusooka mu wiiki, buli omu mu mmwe abeeko ky'atereka, okusinziira ku nfuna ye, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.

[3] Bwe ndituuka, abo be musiima be ndituma, ne bagenda n'ebbaluwa, ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemu.

[4] Bwe kirirabika nti kisaanye nange ŋŋende, baligenda nange.

[5] Ndijja gye muli nga mmaze okuyita e Makedooniya, kubanga e Makedooniya gye ndiyita.

[6] Era osanga ndibeera nammwe, mpozzi n'okumalirako ddala n'ebiro eby'obutiti, mulyoke munnyambe okwongera olugendo lwange buli gye ndigenda.

[7] Kaakano ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, nsuubira okumala nammwe ebbanga eriwerako, Mukama bw'alisiima.

[8] Kyokka ndisigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote,

[9] kubanga nfunye omukisa munene okukolayo omulimu ogw'omugaso, newaakubadde ng'eriyo abalabe bangi.

[10] Timoteewo bw'alijja, mulabe nti tabaako ky'atya ng'ali mu mmwe, kubanga akola omulimu gwa Mukama nga nze.

[11] N'olwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe, olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi, kubanga nze n'abooluganda tumulindiridde.

[12] Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apollo, namwegayirira nnyo ajje gye muli ng'ali n'abooluganda abalala, kyokka ye n'atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng'afunye ebbanga.

[13] Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ba maanyi.

[14] Byonna bye mukola, mubikozesenga kwagala.

[15] Abooluganda, mumanyi nti ab'ennyumba ya Siteefano be baasooka okukyuka mu Asiya, era beewaayo okuweereza abantu ba Katonda. Mbeegayirira

[16] muwulirenga abantu ng'abo, era na buli omu afuba okukolera awamu nabo.

[17] Siteefano ne Forutunaato ne Akayiko bwe bajja, nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.

[18] Era bansanyusa era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng'abo mubassengamu ekitiibwa.

[19] Ebibiina by'abakkiriza Kristo eby'omu Asiya bibalamusizza. Akwila ne Priska, awamu n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekiri mu maka gaabwe, babalamusizza nnyo mu Mukama.

[20] Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.

[21] Nze Pawulo mbaweerezza okulamusa kuno, kwe mpandiise n'omukono gwange gwennyini.

[22] Oba nga waliwo atayagala Mukama, avumirirwe. Mukama ajja.

[23] Mukama waffe Yesu abakwatirwenga ekisa.

[24] Mwenna mbaagala mu Kristo Yesu. Amiina.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters