Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 3:15

[1] Kale abooluganda, ssaasobola kwogera nammwe ng'abafugibwa omwoyo, naye nayogera nammwe ng'abantu abafugibwa omubiri, abakyali abato mu Kristo.

[2] Nabanywesa mata, ssaabaliisa mmere, kubanga mwali temunnagisobola. Era ne kaakano temunnagisobola,

[3] kubanga mukyafugibwa mubiri. Kale obuggya n'okuyombagana bwe bibeera mu mmwe, olwo nga temufugibwa mubiri, era nga n'empisa zammwe si za bantu buntu?

[4] Kale omu mu mmwe bw'agamba nti: “Nze ndi wa Pawulo,” n'omulala nti: “Nze ndi wa Apollo,” olwo temuba ng'abantu obuntu?

[5] Kale Apollo ye ani? Ye Pawulo ye ani? Si baweereza buweereza abaabaleetera okukkiriza, nga Mukama bwe yawa buli omu?

[6] Nze nasiga, Apollo n'afukirira, kyokka Katonda ye yakuza.

[7] Oyo asiga, n'oyo afukirira si be bakulu, wabula Katonda akuza.

[8] Oyo asiga, n'oyo afukirira, bonna benkana, era buli omu aliweebwa empeera ye, okusinziira ku mulimu gwe yakola,

[9] kubanga ffe tuli bakozi, abakolera awamu ne Katonda. Mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.

[10] Nakola omulimu gw'omuzimbi omukugu, nga nsinziira ku kisa Katonda kye yankwatirwa, ne nteekawo omusingi, n'omuzimbi omulala kw'azimbira. Kyokka buli aguzimbirako yeegenderezenga,

[11] kubanga Yesu Kristo yateekebwawo, nga gwe musingi gwokka, era tewali ayinza kuteekawo musingi mulala.

[12] Kale ku musingi ogwo, omuntu bw'azimbisaako zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, emiti, essubi, ebisasiro –

[13] omulimu gwa buli omu gulirabibwa. Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lwe luligwoleka, kubanga lulikya na muliro. Era omuliro ogwo gwe gulyoleka omulimu gwa buli omu nga bwe gufaanana.

[14] Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera.

[15] Naye bwe kiryokebwa, alikifiirwa. Wabula ye yennyini alirokolebwa, kyokka ng'ali ng'ayise mu muliro.

[16] Temumanyi nga muli ssinzizo lya Katonda, era nga Mwoyo wa Katonda abeera mu mmwe?

[17] Kale omuntu bw'azikiriza essinzizo lya Katonda, omuntu oyo alizikirizibwa Katonda, kubanga essinzizo lya Katonda ttukuvu, era essinzizo eryo ye mmwe.

[18] Waleme kubaawo yeerimba. Bwe wabaawo mu mmwe eyeerowooza okuba omugezi mu by'ensi, afuukenga musiru, lw'aliba omugezi,

[19] kubanga amagezi g'ensi, buba busirusiru mu maaso ga Katonda. Kyawandiikibwa nti: “Katonda akwatira abagezi mu bugezigezi bwabwe.”

[20] Era kyawandiikibwa nti: “Mukama amanyi nti ebirowoozo by'abagezi tebiriimu nsa.”

[21] Kale mulemenga kwenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe.

[22] Oba Pawulo, oba Apollo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo, byonna byammwe.

[23] Mmwe muli ba Kristo, ate Kristo wa Katonda.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters