[1] Abantu basaana batulabenga nti tuli baweereza ba Kristo, abaakwasibwa ebyama bya Katonda,
[2] kubanga omuwanika kimugwanira okuba omwesigwa.
[3] Naye nze sifaayo, mmwe oba omuntu omulala yenna okunsalira omusango. Nange nzennyini sigwesalira,
[4] kubanga seemanyiiko musango. Naye ekyo tekitegeeza nti sirina musango, wabula agunsalira ye Mukama.
[5] N'olwekyo temusaliranga muntu musango ng'ekiseera tekinnatuuka, era nga Mukama tannajja. Bw'alijja, alimulisa buli kintu ekikwekeddwa mu kizikiza; era aliraga ebirowoozo ebiri mu mitima gy'abantu. Olwo n'alyoka awa buli omu ettendo erimusaanira.
[6] Abooluganda, ebyo byonna mbyogedde ku Apollo ne ku nze nzennyini, ng'ekyokulabirako, biryoke bibayambe, muyige ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Tosukkanga kipimo.” Era mu mmwe temusaana kubaamu agulumiza muntu n'omu, ate n'anyooma omulala.
[7] Ani akufudde omukulu wa banno? Kiki ky'olina ky'otaaweebwa buweebwa? Kale oba nga waweebwa, lwaki weenyumiriza ng'ataaweebwa buweebwa?
[8] Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga. Mugaggawadde. Mufuuse bakabaka, newaakubadde nga ffe si bwe tuli. Ddala nandyagadde mube bakabaka, naffe tulyoke tubeere bakabaka wamu nammwe.
[9] Kubanga ndowooza nti ffe abatume, Katonda yatuwa ekifo ekisemberayo ddala, nga tuli ng'abasaliddwa ogw'okuttibwa, kubanga twafuuka ekyo ensi n'abantu bonna kye beerolera.
[10] Ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi. Mmwe muweebwa ekitiibwa, naye ffe tunyoomebwa.
[11] Era n'okutuusa kati tulumwa enjala n'ennyonta, tetulina kye twambala, tukubibwa, era tubungeeta bubungeesi;
[12] era tutegana nga tukola n'emikono gyaffe. Batukolimira, ffe ne tubasabira mikisa. Bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza.
[13] Bwe tuvumibwa, ffe tuddamu na ggonjebwa. Era okutuusa kaakano, tuli ng'ebisasiro by'ensi era obusa bwa byonna.
[14] Ebyo sibiwandiika lwa kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa.
[15] Kubanga newaakubadde nga mu Kristo mulina abayigiriza nkumi na nkumi, naye temulina bakitammwe bangi. Kubanga olw'okubaleetera Amawulire Amalungi, nafuuka kitammwe mu Kristo Yesu.
[16] Kale mbegayiridde mulabirenga ku nze.
[17] Kyenvudde mbatumira Timoteewo. Ye mwana wange omwagalwa era omwesigwa. Alibajjukiza ebyo bye ngoberera mu bulamu bwange mu Kristo, era bye njigiriza wonna wonna mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo.
[18] Abamu mu mmwe beekulumbaza nga balowooza nti nze sigenda kujja gye muli.
[19] Kyokka Mukama bw'alyagala, ndijja mangu gye muli mmanyire ddala ebyo abeekulumbaza bye baasooka okukola, sso si ebyo bye boogera obwogezi.
[20] Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi.
[21] Mwagalako ki? Mwagala njije na muggo oba njije nga njijudde okwagala era n'obukkakkamu?