Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:10

[1] Abooluganda, njagala mumanye ebyatuuka ku bajjajjaffe. Bonna baakulemberwanga ekire, era bonna baayita mu nnyanja emmyufu.

[2] Era bonna ng'abagoberezi ba Musa, baabatizibwa mu kire ne mu nnyanja,

[3] era bonna emmere baalyanga ku emu ey'omwoyo.

[4] Era bonna baanywanga ekyokunywa kimu eky'omwoyo, kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo yali Kristo.

[5] Naye era bangi ku bo, Katonda teyabasiima. Kyebaava bafiira mu ddungu.

[6] Ebyo byali bya kutulabula, tulemenga okwegomba ebibi, nga bo bwe baakola.

[7] Temusinzanga ebyo ebitali Katonda, ng'abamu ku bo bwe baakola, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu baatuula okulya n'okunywa, ne basituka okuzannya.”

[8] Tulemenga okwenda, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, ku lunaku lumu.

[9] Tulemenga kukema Mukama, ng'abamu ku bo bwe baamukema, ne bazikirizibwa emisota.

[10] Era tulemenga kwemulugunya, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, malayika n'abatta.

[11] Ebyo byonna byabatuukako, biryoke bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa olw'okuyigiriza ffe abaliwo ng'enkomerero eneetera okutuuka.

[12] Kale oyo alowooza nti ayimiridde, yeegenderezenga aleme okugwa.

[13] Ebikemo ebibatuuseeko, by'ebyo ebituuka ku bantu bonna. Katonda mwesigwa, era taabalekenga kutuukibwako bikemo bibayitiridde. Era mu kukemebwa, anaabawanga amaanyi ag'okugumira ebikemo, n'amagezi ag'okubiwangula.

[14] N'olwekyo, mikwano gyange, mwewalenga okusinza ebyo ebitali Katonda.

[15] Njogera nammwe nga mmanyi nti mutegeera. Kale mulabe kye ŋŋamba.

[16] Bwe twebaza Katonda olw'ekikopo ekiweebwa omukisa, tuba tetussa kimu n'omusaayi gwa Kristo?

[17] Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga tugabana ku mugaati gumu.

[18] Kale mulabe ab'eddiini y'Ekiyudaaya kye bakola: abo abalya ebitambiro eby'oku alutaari, tebeetaba wamu ne Katonda aweerezebwa ebitambiro ebyo?

[19] Ddala ŋŋamba nti ekyo ekitali Katonda, oba ekyokulya ekiweebwayo eri ebitali Katonda, biriko kye bigasa?

[20] Nedda temuli mugaso. Kye ŋŋamba kye kino nti ebyo abantu b'ensi bye batambira, babitambirira balubaale, sso si Katonda. Naye saagala mmwe mwetabe na balubaale.

[21] Temuyinza kunywa ku kikopo kya Mukama, ne ku kikopo kya balubaale. Temuyinza kuliira ku mmeeza ya Mukama, ne ku mmeeza ya balubaale.

[22] Kale twagala kunyiiza Mukama? Ffe tumusinga amaanyi?

[23] Byonna bikkirizibwa, weewaawo, naye si byonna ebigasa. Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebizimba.

[24] Walemenga kubaawo afa ku bibye byokka, wabula afenga ne ku by'abalala.

[25] Buli ekitundibwa mu katale, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe.

[26] Kubanga ensi ne byonna ebigirimu bya Mukama.

[27] Atali mukkiriza bw'abayitanga ku kijjulo, ne mukkiriza okugenda, buli kye babaleeteranga okulya, mukiryanga nga temuliiko kye mubuuza olw'obulungi bw'omwoyo gwammwe.

[28] Naye omuntu bw'abagambanga nti: “Kino kyaweereddwayo eri ebitali Katonda,” temukiryanga olw'oyo abagambye, n'olw'obulungi bw'omwoyo.

[29] Ŋŋamba lwa bulungi bwa mwoyo gwe, sso si gugwo. Waliwo ayinza okugamba nti: “Lwaki eddembe lyange likugirwa olw'okweraliikirira kw'omuntu omulala?

[30] Bwe ndya nga neebazizza Katonda, lwaki nnenyezebwa olw'ekyo kye ndya nga neebazizza?”

[31] Kale byonna bye munaakolanga, oba kulya oba kunywa, mubikolenga nga mugendereramu kitiibwa kya Katonda.

[32] Temwesittazanga Bayudaaya, newaakubadde Abayonaani, wadde ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo.

[33] Mube nga nze agezaako okusanyusa bonna mu buli kye nkola, nga sifa ku bulungi bwange nzekka, wabula ku bwa bangi, balyoke balokolebwe.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters