Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 4:28

[1] Mulabire ku nze, nga nze bwe ndabira ku Kristo.

[2] Mbatendereza olw'okunjijukira mu byonna n'olw'okugoberera byonna nga bwe nabayigiriza.

[3] Naye njagala mutegeere nti Kristo ye akulira buli muntu, era nti omusajja ye akulira mukazi we, era nti Katonda ye akulira Kristo.

[4] Kale omusajja bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, n'abikka omutwe gwe, aswaza Kristo, Mukama we.

[5] Kyokka omukazi bw'aba nga yeegayirira Katonda, oba ng'ategeeza abantu ekigambo kya Katonda, nga tabisse mutwe gwe, aswaza bba; kubanga omukazi oyo aba ng'amwereddwako enviiri.

[6] Kale omukazi bw'atabikka ku mutwe gwe, asalengako enviiri ze. Naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalako enviiri ze, oba okumwebwa omutwe, kale ateekwa okubikkanga ku mutwe gwe.

[7] Omusajja ye tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye alaga ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda. Kyokka omukazi ye alaga ekitiibwa ky'omusajja,

[8] kubanga omusajja si ye yatondebwa ng'aggyibwa mu mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja.

[9] Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw'omusajja.

[10] Kale olwa bamalayika, omukazi asaanye okubangako akabonero ku mutwe gwe, akalaga nti afugibwa.

[11] Newaakubadde nga kiri bwe kityo, naye mu Mukama, omukazi tabaawo awatali musajja, n'omusajja tabaawo awatali mukazi,

[12] kubanga ng'omukazi bwe yatondebwa ng'aggyibwa mu musajja, n'omusajja azaalibwa mukazi; naye byonna biva wa Katonda.

[13] Nammwe mwennyini mulabe: kisaana omukazi okwegayirira Katonda nga tabisse ku mutwe gwe?

[14] Embeera y'abantu tebayigiriza nti omusajja okukuza enviiri kimuswaza,

[15] naye ng'omukazi okuba n'enviiri empanvu kiba kya kitiibwa? Kubanga enviiri ze zaamuweebwa lwa kumubikka.

[16] Naye bwe wabaawo ayagala okuleeta empaka ku bino, ategeere nti ffe, wadde ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo tetulinaayo kirala.

[17] Mu kino kye mbakubiriza, sibatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana, ebivaamu tebiba birungi, wabula biba bibi.

[18] Ekisookera ddala, bantegeeza nti bwe mukuŋŋaana mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, mwawukanayawukanamu, era ekyo ku ludda olumu nzikiriza nti bwe kiri,

[19] kubanga era okwesalaasalamu kuteekwa okubaawo, ab'amazima mu mmwe balyoke bamanyibwe.

[20] Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya tekikyali kya kiro kya Mukama waffe,

[21] kubanga bwe muba mulya, buli omu alya mmere ye, n'atalinda banne. Abamu baba bakyali bayala, abalala nga batamidde.

[22] Kale temulina maka ga kuliirangamu na kunywerangamu? Oba munyooma ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, ne muswaza abo abatalina kantu? Mbagambe ki? Mbatendereze olw'ekyo? Nedda, sibatendereza.

[23] Mukama ye yampa ekyo kye nabayigiriza mmwe nti: Mukama Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yakwata omugaati,

[24] ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agamba nti: “Kino gwe mubiri gwange, oguliwo ku lwammwe. Kino mukikolenga olw'okunjijukira.”

[25] Era bw'atyo bwe yakola ne ku kikopo. Bwe baamala okulya, n'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda, n'ekakasibwa n'omusaayi gwange. Buli lwe munaakinywangako, mukinywengako olw'okunjijukira.”

[26] Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno, era buli lwe munaanywanga ku kikopo kino, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama, okutuusa lw'alijja.

[27] N'olwekyo buli alya ku mugaati guno, oba anywa ku kikopo kya Mukama nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama.

[28] Kale nno omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati era anywe ku kikopo,

[29] kubanga buli alya era anywa nga tasaanidde, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga, kubanga aba tategedde makulu ga mubiri gwa Mukama.

[30] Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu bangi abalwadde n'abanafu, era bangi bafudde.

[31] Naye singa tusooka okwekebera, Katonda teyanditusalidde musango.

[32] Naye Mukama bw'atusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi.

[33] Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, mulindenga bannammwe.

[34] Era singa wabaawo alumwa enjala, amalenga okulya ng'akyali eka, okukuŋŋaana kwammwe kuleme okunenyezebwanga. Ebirala, ndibitereeza nga nzize.

Ebbaluwa Embereberye Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters