[1] Abooluganda, bwe najja gye muli, okubategeeza ekyama kya Katonda, saakozesa bigambo bizibu okutegeera, oba eby'amagezi ennyo,
[2] kubanga bwe nali nammwe nasalawo okwerabira ebirala byonna, okuggyako Yesu Kristo, eyakomererwa ku musaalaba.
[3] Bwe nali mu mmwe, nali munafu era nga nkankana nnyo olw'okutya.
[4] Era mu kwogera kwange ne mu kuyigiriza kwange, temwalimu bigambo bya magezi ebisendasenda, wabula mwalimu amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu,
[5] okukkiriza kwammwe kuleme kunywerera ku magezi ga bantu buntu, wabula ku maanyi ga Katonda.
[6] Naye mu abo abakulu mu mwoyo, twogera eby'amagezi, naye eby'amagezi agatali ga bantu ab'oku nsi kuno, wadde ag'abafuzi b'ensi eno, abaggwaawo,
[7] wabula twogera eby'amagezi ga Katonda agatamanyiddwa bantu, era agaakisibwa. Katonda yagateekateeka edda n'edda lyonna, gabe ekitiibwa kyaffe.
[8] Tewali n'omu ku bafuzi ku nsi kuno ategeera magezi ago, kubanga singa baagategeera, tebandikomeredde ku musaalaba Mukama oweekitiibwa.
[9] Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Ebyo eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawulirangako, era ebitalowoozebwangako muntu n'omu, by'ebyo Katonda bye yategekera abamwagala.”
[10] Kyokka ffe, Katonda ng'ayita mu Mwoyo we, yatumanyisa ekyama ekyo, kubanga Mwoyo anoonyereza buli kintu, n'ekyo ekiri mu Katonda yennyini.
[11] Tewali amanya birowoozo bya muntu, wabula omwoyo gwe gwe gubimanya. Bwe kityo ne Mwoyo wa Katonda ye yekka amanya ebya Katonda.
[12] Tetwaweebwa mwoyo gwa ku nsi kuno, wabula twaweebwa Mwoyo eyava ewa Katonda, tulyoke tutegeerenga ebyo Katonda by'atuwa.
[13] N'olwekyo tetwogera bigambo bya magezi ga bantu buntu, wabula twogera ebyo Mwoyo by'ayigiriza, ne tubinnyonnyola abo abategeera ebya Mwoyo.
[14] Naye omuntu atafugibwa Mwoyo wa Katonda, tasobola kukkiriza bya Mwoyo wa Katonda, kubanga abiraba ng'eby'obusirusiru. Era tayinza kubitegeera, kubanga byekenneenyezebwa muntu alina Mwoyo wa Katonda.
[15] Oyo afugibwa omwoyo yeekenneenya byonna, naye ye tewali n'omu amwekenneenya,
[16] kubanga, “ani amanyi Mukama by'alowooza alyoke amuwabule”? Kyokka ffe tumanyi endowooza ya Kristo.