[1] Guno gwe mulundi ogwokusatu gwe njija gye muli. Buli kigambo kirikakasibwa nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.
[2] Bwe nali nammwe ku mulundi ogwokubiri nalabula abo abaayonoona edda, era nalabula n'abalala bonna. Ne kaakano, newaakubadde nga siri nammwe, nziramu okubalabula nti bwe ndijja, siribaako gwe nsaasira.
[3] Bulijjo mmwe mwagala ekikakasa nti Kristo ayogerera mu nze. Kristo oyo tabafuza bunafu, wabula aba wa maanyi mu nze.
[4] Kubanga newaakubadde yakomererwa ku musaalaba nga munafu, kyokka mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Naffe mu ye tuba banafu. Kyokka mu kukolagana nammwe, tujjanga kuba naye mu maanyi ga Katonda.
[5] Mwekebere era mwegeze mulabe oba nga mukyanyweredde mu kukkiriza. Temumanyi nti Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye!
[6] Nsuubira nti mujja kumanya nti ffe tetulemeddwa.
[7] Naye tusaba Katonda, muleme kukola kibi, si lwa kwagala kulabika nti twakola bulungi, wabula mmwe mukole ekituufu, ffe ne bwe tunaalabika ng'abalemeddwa.
[8] Tetuyinza kukola kintu na kimu ekiwakanya amazima, wabula okugalwanirira.
[9] Tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, naye mmwe ne muba ab'amaanyi. Era kye tubasabira mmwe eri Katonda, kwe kutuukirira.
[10] Bino mbibawandiikidde nga sinnajja gye muli, bwe ndijja nneme okuba omukambwe mu kukozesa obuyinza Mukama bwe yampa okubazimba, sso si okubazikiriza.
[11] Kale kaakano abooluganda, mweraba. Mufube okuba abatuukiridde, mugumyaŋŋanenga, mulowoozenga bumu, mube n'emirembe, ne Katonda nnannyini kwagala n'emirembe, anaabanga nammwe.
[12] Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana.
[13] Abantu ba Katonda bonna babalamusizza.
[14] Ekisa Mukama waffe Yesu Kristo ky'atukwatirwa, n'okwagala kwa Katonda kw'atwagalamu, n'okussa ekimu Mwoyo Mutuukirivu kw'atuwa, bibeerenga nammwe mwenna.