[1] Nze Pawulo omutume, obutume bwange tebwava mu bantu, wadde okuyita ku muntu n'omu, wabula bwava eri Yesu Kristo, ne Katonda Kitaffe, eyazuukiza Yesu oyo.
[2] Nze n'abooluganda bonna be ndi nabo, tuwandiikira ab'ebibiina by'abakkiriza Kristo ebiri e Galatiya.
[3] Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe ekisa, era babawe emirembe.
[4] Kristo oyo yeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi, nga Katonda waffe era Kitaffe bwe yayagala.
[5] Katonda oyo aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
[6] Mbeewuunya mmwe! Mu kaseera kano akatono, muvudde ku oyo eyabayita olw'ekisa kya Kristo, ne muwuliriza Amawulire Amalungi amalala.
[7] Mu butuufu, tewali Mawulire Malungi malala, wabula waliwo abantu abamu ababatawaanya, nga bagezaako okukyamya Amawulire Amalungi aga Kristo.
[8] Kyokka ne bwe tuba ffe, oba malayika avudde mu ggulu, n'abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
[9] Nga bwe twayogera okusooka, era ne kaakano nkiddamu nti: bwe wabangawo abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
[10] Kale kaakano nkolerera kusiimibwa bantu, oba Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa mbadde nkyanoonya kusanyusa bantu, sandibadde muweereza wa Kristo.
[11] Abooluganda, mbategeeza nti Amawulire Amalungi ge nabategeeza si ga bantu buntu.
[12] Saagafuna kuva ku muntu, era tewali n'omu yaganjigiriza, wabula Yesu yennyini ye yagammanyisa.
[13] Mwawulira nga bwe nabeeranga, nga nkyagoberera eddiini y'Ekiyudaaya, era mwawulira nga bwe nayigganyanga ennyo ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, nga ngezaako okukizikiriza.
[14] Era nasinga nnyo Bayudaaya bannange bwe twakula, ne mbasukkirira mu kujjumbira obulombolombo bwa bajjajjaffe.
[15] Naye Katonda yanjawula nga sinnava na mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye.
[16] Era bwe yasiima okummanyisa Omwana we, ndyoke mmutegeeze ab'amawanga amalala, sirina gwe neebuuzaako,
[17] wadde okwambuka e Yerusaalemu eri abo abansooka okuba abatume, wabula nagenda mu Buwarabu, oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
[18] Ate bwe waayitawo emyaka esatu, ne nnyambuka e Yerusaalemu okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.
[19] Kyokka ssaalaba mulala ku batume, okuggyako Yakobo muganda wa Mukama waffe.
[20] Ndayira mu maaso ga Katonda nti bye mpandiika bya mazima, sirimba.
[21] Oluvannyuma nagenda mu bitundu by'e Siriya ne Kilikiya.
[22] Era nali sinnamanyibwa ba bibiina by'abakkiriza Kristo, ab'omu Buyudaaya,
[23] wabula baawuliranga buwulizi, nti oyo eyatuyigganyanga edda, kaakano ategeeza abantu bakkirize ekyo kye yagezangako okuzikiriza.
[24] Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.