Skip to content
Opens in a new window
Listen to this chapter • 2:29

[1] Nze nzennyini Pawulo, ayogerwako nti mba mutiitiizi nga ndi nammwe ne mba wa maanyi nga siri nammwe, mbeegayirira olw'obuwombeefu n'obukkakkamu bwa Kristo.

[2] Mbasaba nti bwe ndiba nga ndi nammwe, muleme kundeetera kwogeza maanyi, ge nkozesa eri abalala abalowooza nti tugoberera bya nsi.

[3] Kuba newaakubadde nga tuli mu nsi, naye tetulwana ng'ab'ensi.

[4] Ebyokulwanyisa byaffe mu lutalo, tebiri ng'eby'ab'ensi, wabula birina amaanyi agava eri Katonda, okusaanyaawo ebigo.

[5] Tumalirawo ddala empaka era na buli ekyekulumbaza okuziyiza Katonda okumanyibwa. Era tujeemulula buli kirowoozo, kiwulire Kristo.

[6] Bwe mulimala okugondera ddala, tweteeseteese okubonereza obujeemu bwonna.

[7] Mulabe ebintu nga bwe biri. Omuntu bwe yeerowooza nti wa Kristo, ajjukire nti naffe tuli ba Kristo nga ye.

[8] Tekinkwasa nsonyi ne bwe mba nga nsukkirizza okwetenda olw'obuyinza bwa Mukama bwe yatuwa olw'okubazimba, sso si olw'okubazikiriza.

[9] Sandyagadde kuba ng'abatiisa na bbaluwa zange.

[10] Abantu bagamba nti: “Ebbaluwa za Pawulo nkambwe era za maanyi, kyokka bw'abeera naffe aba munafu, era ebigambo bye binyoomebwa.”

[11] Alowooza bw'atyo, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.

[12] Ffe tetwagala kwebalira mu abo abeetendereza, wadde okwegeraageranya nabo. Bwe beegeraageranya, beegeraageranya ku bo bennyini. Tebalina magezi.

[13] Naye ffe tetujja kwenyumiriza nga tetuliiko kkomo. Tujja kukoma ku mirimu Katonda gye yatugerera, nga mw'otwalidde n'ogwo gwe twakola mu mmwe.

[14] Nga mmwe bwe muli mu kitundu Katonda kye yatugerera, tetwakibuuka bwe twajja gye muli nga tubategeeza Amawulire Amalungi agafa ku Kristo.

[15] Tetwenyumiriza lwa mulimu abalala gwe baakola ebweru w'ekitundu Katonda kye yatugerera. Wabula tusuubira nti okukkiriza kwammwe nga bwe kugenda kweyongera, era n'omulimu gwaffe mu mmwe gweyongera okugaziwa.

[16] Olwo tulisobola okutuusa Amawulire Amalungi ku bantu abali mu bitundu ebiri eyo okuyisa ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa abalala mu kitundu kyabwe.

[17] Kyokka ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, “Eyeenyumiriza, yeenyumirizenga mu Mukama waffe.”

[18] Omuntu eyeetenda, si ye akkirizibwa, wabula oyo Mukama gw'asiima.

Ebbaluwa Eyookubiri Pawulo Gye Yawandiikira Abakorinto — Chapters