[1] Kale nga bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira muleme kugayaalirira kisa Katonda kye yabakwatirwa.
[2] Katonda agamba nti: “Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasirirwamu, ne nkuyamba ku lunaku olw'okulokolerwako.” Laba kaakano kye kiseera eky'okusaasirirwamu, era leero lwe lunaku olw'okulokolerwako.
[3] Tetwagala kukola kyesittaza muntu n'omu, sikulwa ng'omulimu gwaffe gubaako kye gunenyezebwamu.
[4] Naye mu byonna tulaga nga tuli baweereza ba Katonda, nga tugumiikiriza nnyo mu kubonyaabonyezebwa, mu bitukaluubirira, ne mu kunyolwa.
[5] Tukubiddwa, tusibiddwa mu makomera, tuyise mu busasamalo, tukoze emirimu, era nga tetwebaka wadde okulya.
[6] Era mu butukuvu, mu kumanya, mu kugumiikiriza, mu kuba ab'ekisa, mu kuba ne Mwoyo Mutuukirivu era n'okwagala okutaliimu bukuusa, tulaga nga tuli baweereza ba Katonda.
[7] Twogera amazima, era tukolera ku maanyi ga Katonda. Era obutuukirivu bye byokulwanyisa bye tulina mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono.
[8] Abamu batussaamu ekitiibwa, abalala batugaya. Abamu batwogerako bubi, abalala batwogerako bulungi. Tuyitibwa balimba, sso nga twogera mazima.
[9] Tuli ng'abatamanyiddwa, sso nga bonna batumanyi. Tuli ng'abafudde, sso nga tuli balamu. Newaakubadde nga tubonerezebwa, naye tetuttibwa.
[10] Newaakubadde nga tunakuwazibwa, naye tuli basanyufu bulijjo. Tuli ng'abaavu, naye tugaggawaza bangi. Tuli ng'abatalina kantu, naye ddala tulina byonna.
[11] Mmwe ab'e Korinto, twogedde lwatu gye muli, tetubakisizza kiri mu mitima gyaffe.
[12] Ffe tetubeekwekeredde, wabula mmwe mutwekwekeredde.
[13] Njogera nammwe ng'abaana bange, nammwe mube nga ffe bwe tuli eri mmwe, temutwekwekerera.
[14] Temwegattanga wamu na batakkiriza, kubanga tekibasaanira mmwe. Kale obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba ekitangaala kitabagana kitya n'ekizikiza?
[15] Era Kristo atabagana atya ne Sitaani? Oba, omugoberezi wa Kristo atabagana atya n'atali mugoberezi wa Kristo?
[16] Era Essinzizo lya Katonda litabagana litya n'ebyo ebitali Katonda? Ffe tuli Ssinzizo lya Katonda Nnannyinibulamu. Nga ye bw'agamba nti: “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.”
[17] Era Mukama agamba nti: “N'olwekyo mubaveemu, mwawukane nabo. Era temukwatanga ku kitali kirongoofu, olwo nange ndibaaniriza mmwe.
[18] Ndiba kitammwe, nammwe ne muba batabani bange ne bawala bange. Bw'atyo Mukama Omuyinzawaabyonna bw'agamba.”