[1] N'olwekyo namalirira obutakomawo eyo, nneme kuddamu kubanakuwaza.
[2] Nze bwe mbanakuwaza, ani anansanyusa? Si mmwe be nnakuwaza?
[3] Kyennava mbawandiikira, bwe ndijja, nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza. Nkakasa nti bwe nsanyuka, era nammwe musanyuka.
[4] Nabawandiikira nga ndi mu kubonaabona kungi, nga n'omutima gujjudde obulumi, era nga nkaaba amaziga mangi. Mu kubawandiikira, saagenderera kubanakuwaza, wabula nayagala kubalaga nga bwe mbaagala ennyo.
[5] Bwe wabaawo eyaleetera munne okunakuwala, teyakuleetera nze, wabula ku ludda olumu, bwe mba siyitirizza, yakuleetera mmwe mwenna.
[6] Omuntu ng'oyo, ekibonerezo ekyo ky'aweereddwa abangi, kimala.
[7] N'olwekyo musaanidde okumusonyiwa, n'okumugumya, aleme okunakuwala ekiyitiridde, n'okuterebukira ddala.
[8] Kyenva mbeegayirira, mumulage nti mumwagala.
[9] Era kyennava mbawandiikira, ndabe nga muli bawulize mu byonna.
[10] Buli gwe musonyiwa, nange mmusonyiwa. Nange kye nasonyiwa, oba nga weekiri, nakisonyiwa ku lwammwe, mu maaso ga Kristo,
[11] Sitaani aleme kutuzingiza, kubanga tumanyi enkwe ze.
[12] Bwe natuuka mu Turoowa okutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo, newaakubadde nasanga nga Mukama anziguliddewo oluggi,
[13] omutima gwange tegwatereera, kubanga saasangayo muganda wange Tito. Kyennava nsiibula abantu baayo, ne ŋŋenda e Makedooniya.
[14] Kyokka Katonda yeebazibwe, atuwanguza bulijjo olwa Kristo. Katonda ye atukozesa okumanyisa Kristo mu bantu bonna, era Amawulire Amalungi gali ng'akawoowo akasaasaanira wonna.
[15] Tuli kawoowo ka Kristo, k'aweereza eri Katonda, akatuuka ku abo abalokolebwa, ne ku abo abazikirira.
[16] Mu abo abazikirira, tuli kivundu kya lumbe ekireeta okufa. Naye mu abo abalokolebwa, tuli kawoowo ka bulamu, akaleeta obulamu. Kale ebyo ani abisobola?
[17] Tetuli ng'abangi abo abakozesa ekigambo kya Katonda olw'okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe, kubanga twatumibwa Katonda, twogera nga tetuliimu bukuusa mu maaso ga Katonda, nga tuli mu Kristo.