[1] Abaagalwa, nga bwe twasuubizibwa ebyo, twetukuze, mu ebyo byonna ebyonoona omubiri, n'ebyonoona omwoyo, tulyoke tubeerere ddala batukuvu abassaamu Katonda ekitiibwa.
[2] Mutuwe ekifo mu mitima gyammwe. Tetuliiko gwe twakola kabi, tetuliiko gwe twazikiriza, era tetuliiko gwe twalyazaamaanya.
[3] Ebyo sibyogedde lwa kubanenya. Nagambye dda nti muli baagalwa baffe, abali naffe bulijjo mu kufa, oba mu bulamu.
[4] Mbeesiga nnyo, era mbeenyumiririzaamu nnyo. Newaakubadde tubonyaabonyezebwa, naye nziramu amaanyi, ne nzijula essanyu.
[5] Era ne bwe twatuuka mu Makedooniya, tetwawummula n'akatono. Twabonaabona eruuyi n'eruuyi: twali twetooloddwa ennyombo, era ng'emitima gyaffe gyeraliikirira.
[6] Kyokka Katonda asanyusa abasobeddwa, yatusanyusa olw'okujja kwa Tito.
[7] Si lwa kujja kwe kwokka, naye era n'okututegeeza nga bwe mwamusanyusa. Yatutegeeza nga bwe mwagala ennyo okundabako, nga bwe mulumwa olw'ebyo ebyagwawo, era nga bwe munnumirwa ennyo. Neeyongera okusanyuka olw'ebyo.
[8] Newaakubadde nga nabanakuwaza mu bbaluwa yange, ssejjusa. Weewaawo nejjusa kubanga nalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza okumala akaseera.
[9] Naye kaakano nsanyuka, si lwa kuba nga nabanakuwaza, naye kubanga okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya. Okunakuwala okwo Katonda yakusiima, n'olwekyo tetulina kye twabafiiriza.
[10] Okunakuwala okusiimibwa Katonda, kuleeta okwenenya okuvaamu okulokolebwa, era tekuleetera bantu kujulirira. Naye okunakuwala okw'abantu ab'ensi, kuvaamu okufa.
[11] Kale mulabe okunakuwala okwo Katonda kw'asiima bye kwabaleetera: mwafuba nnyo, mwennyonnyolako, mwasunguwala, mwatya, mwegomba okundaba, mwewaayo eri Katonda, era mweteekateeka okubonereza buli akola ekibi. Mu byonna mweraga nga temuliiko kye munenyezebwa mu kino.
[12] Kale newaakubadde nga nabawandiikira ebbaluwa eyo, saagiwandiika lw'oyo eyakola ekibi, oba olw'oyo eyakolwa ekibi, wabula nagiwandiika lwa kukakasa mu maaso ga Katonda nti mutulumirwa.
[13] N'olwekyo twaddamu amaanyi. Ne mu kuddamu amaanyi, tweyongera okusanyuka ennyo olw'essanyu lya Tito, mmwe mwenna gwe mwawonya okweraliikirira.
[14] Ne bwe mba nga nabatenda nnyo gy'ali, temwanswaza. Kuba nga byonna bye twabategeeza bwe biri eby'amazima, n'okubatenda eri Tito kweragira ddala nga kwa mazima.
[15] Era naye olw'okujjukira nga bwe mwamussaamu ennyo ekitiibwa, yeeyongedde nnyo okubaagala.
[16] Nsanyuse kubanga nnyinza okubeesigira ddala mu byonna.